Komposti

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Brazil, Gwatemala, Honduras, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

205⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

Nakavundira Kye kki

  • Ayongera obulungi bw'obutonde bw'ettaka n'ebintu ebiramu ebirimu
  • Ayongera obulamu mu ttaka
  • Ayongera ekiriisa eri ebimera
  • Ayongera ku kubala kw‘emwanyi

Nakavundira akozesebwa wamu n’ebigimusa ebizungu oba yekka. Ayamba okwongera obugimu mu ttaka, okunyweza engeri ettaka gye lirimu, n'okuliisa ebirime, era ayongera ebirungo ebikwaatira amazzi mu ttaka okutwalira awamu.

Nakavundira akolebwa okuyita mu ngeri y’okuvunza ebisigalira by‘ebimera. Enkola eno erimu okuvunza ebisigalira by‘ebimera nga okozesa obuwuka obusirikitu obuli mu ttaka. Kino kibaawo nga omukka gwetussa (oxygen) weeguli era embeera eno erina okubeeramu ebirala nga amazzi amatonotono n’ebbugumu. Ebyogeddwaako wagulu bye bifuula ebisigalira by’ebimera biri Nakavundira omutuufu anayamba okuzaamu obugimu n‘obulamu mu ttaka.

Nakavundira ayawuka okusinziira ku bungi n’ebika by’ebisigalira by’ebimera ebikozeseddwa. Ku mutendera ogw'okutandikirwako, enkola ya Nakavundira eteekwa okukola olubugumu okuva mazzi agali mu bikozeseddwa nga amalagala, omuddo, n'ebisigalira by'ebibala n'ebirime, era n'olindirira ebintu ebyo okuvunda mu myezi mitono. Mu bulimi bw‘emwanyi, ebintu ebikulu ebikozesebwa mu kukola Nakavundira bye bikuta byaazo n'obusa oba Kalimbwe w’enkoko. Ebirala ebiyinza okukozesebwa mulimu esaaniko ne byonna ebivunda ebiva mu ffumbiro oba ebisigalira bya makungula. Nakavundira atwaala emyezi 3-4 okuwola obulungi.

Nga wayise ekiseera nga omulimi akozesa Nakavundira, kirowoozebwa nti obugimu mu ttaka bweyongera ne kikendeeza ku bwetaavu bw’okukozesa ebigimusa ebizungu. Kino kiri bwekityo kubanga Nakavundira bwakozesebwa mu bukugu, akendeeza ku mikisa gye ttaka okugwaamu ekiriisa. Okukendeera kw’obwetaavu bw’okukozesa ebigimusa ebizungu kijja kufuula Nakavundira ekintu ekisoboka mu byenfuna era ekijja okwongera mutindo n'obulamu bw'ettaka.

Kino kijja kuyamba okwongera obulungi bw’ekikula ky'ettaka n’okusobozesa emirandira gy‘emwanyi okutuuka wansi mu ttaka. Mu ttaka ery‘olusenyu, Nakavindira ayongeramu ekirungo ekyongera okulikwaatira awamu. Kino kikendeeza ku miwaatwa egiririmu ne lisobola okukwaatiramu amazzi obulungi. Mu ttaka ery'ebbumba, Nakavundira ayongeramu obuwaatwa okusobola okuyamba emirandira gy'ebimera okutuuka ku mazzi n'ebiriisa ebimera bye byetaaga, era n'empewo n‘esobola okuyita mu ttaka. N‘olwekyo, Nakavundira ayamba okuwewula ettaka ery'ebbumba ate nazitoya ettaka ery'omusenyu, ettaka eririmu Nakavundira liba lyangu okukozesa nga tukabala, tusambula oba nga tusimako ebinnya. Mu kiseera kye kimu, Nakavundira aziyiza ettaka okukulugusibwa amazzi ne Kikuunta. Kino kiva ku kuba nti amazzi gasobola okuyingira mu ttaka obulungi era enkuba etonnya tesobola kufuuka mukoka mangu. Ettaka erikwatiddwa wamu Nakavundira ssi kyangu kutwaalibwa Kikuunta.

Obuwuka obulwaza ebimera n'ensigo z’omuddo omubi bikendeezebwa nga tukola n’okukozesa Nakavundira. Kino kiyambako obutaleeta bikuta bye mwanyi butereevu.

205⸱BLaba akatambi

205⸱COby’okufumintiriza

Ebirina okulowoozebwaako

Okusookera ddala, okwekeneenya ettaka okwekikugu kulina okikolebwa nga tonnatandika kukola na kukozesa Nakavundira.

Obungi bw’ebisigalira by'ebimera n’obusa oba kaliimbwe w'ebisolo mu kukola Nakavundira, bujja kusinziira ku kiriisa ekisangiddwa mu ttaka. Okutwalira awamu, omulimi aweebwa amagezi okugatta ebikuta by’emwanyi n'obusa bwa nte mu ngeri ya bitundi bisatu(3) ku kimu(1). Bw'oba okozesezza kaliimbwe wa nkoko, oweebwa amagezi okukozesa ebitundu bina(4) ebya bikuta by’emwanyi ku kitundu kimu(1) ekya kaliimbwe. Ekigendererwa kwe kulaba nti olina ebitundu by’ebirungo ebya Kaluboni/Naayitulogeni (C/N) nga biri asatu(30) ku kimu(1) ku ntandikwa y’okukola Nakavundira.

Okwongera ku kiriisa n’omutindo gwa Nakavudira gwonofulumya, era n’okusiziira mu bivudde mu kukebera ettaka lyo, osabibwa ku okwongeramu ku birungo bya fosifeti (P) ne potasiyamu (K), okugeza nga ebiva mu mayinja ge njazi oba ebikuta bya magi ebyasiddwa. Ekirungo kya Gypsum ow'obulimi (calcium sulfate dihydrate CaSO4·2H2O) nakyo kiyinza okwetaagibwa okukendeeza ku bungi bw'ekirungo ekya nitrogen (N) ekifiira mu kukola Nakavundira wamu n’ebirugo bya kalisiyamu (Ca) ne salufa (S). Obungi bw’ebirungo ebiva mu mayinja ge njazi singa gaba gakozeseddwa gukoma ku bitundu 20% eby’obuzito.

Okukendeeza ku biseera by’otwaala okukola Nakavundiraera n’omutindo, ekirungo kya Bayokkya (Biochar) kisobola okwongerwako okutuuka ku bintundu 10% eby'obuzito. Ekiseera kyotwaala okukola Nakavundira n’emirundi g’yomukyuusa bikendeera kumpi ebitundu 30%. Kino kiva ku kuba nti biochar ayamba okwongera ku empewo emuyitamu ne mu kukola bifunfugu mu Nakavundira.

Mu nnima ey'omulembe endala ekozesa okuvunda kw'ebintu( ebisigalira bye bimera) y'enteekateeka y'okukola Bokashi. Nkola nayo ekozesa obuwuka obusirikitu(microorganisms) obilungi okwanguya okuvunda kw'ebisigalira by’ebimera (Laba ebikwaata ku Bokashi ebisingawo ku mukutu guno).

Kikulu okukolera awamu: Abalimi abakolera mu bibiina balina omukisa munene okukola Nakavundira omungi ate nga wa mutindo okusinga abalimi ba ssekinoomu.

Ebiseera: Okukola Nakavundira kutwaala emyezi nga 3 oba 4. Nakavundira yandikoleddwa bulungi mu biseera by'ekyeya nga amakugula gakaggwa kubanga ebikuta by’emwanyi bibeerawo bingi ate nga kirungi okubikozesa nga bikyaali bipya. N’ekirala waba wabulayo emyeezi ena(4) okutandika okugimusa ekitegeeza nti Nakavundira akoleddwa asobola okukozesebwa. Nakavundira asobola okuteekebwa mu nnimiro buli mwaka. Singa omulimi abeera akozesa ebigimusa ebizungu emirundi egisaanidde mu mwaka, aweebwa amagezi omulundi gumu akozese Nakavundira yekka.

Singa Nakavundira akozesebwa buli mwaka, ettaka nalyo lirina okukeberwa buli mwaka. Mu ngeri eyo, enkyukakyuka mu bungi bw’ekiriisa ekiri mu ttaka eryo esobole okulondoolwa era omuwendo gw'ebigimusa ebiizungu ogukozesebwa gusobola okukendeezebwa nga emyaka gigenda gyeyongera.

Okukozesa Nakavundira kwetaaga obugumiikiriza ku ludda lw’omulimi. Mu myaka egisooka, ebirungi ebimuvaamu bibeera tebirabika bulungi. Wabula, okumukozesa entakera kwongera ku bungi bw'amakungula mwaka ku mwaka.

205⸱DEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Okufuna tani emu ey'obusa obumalirivu obw'okukozesa:

205⸱1Okwetekateka

205⸱2Okukola

Akakodyo

Kola ekigezo ky'omukono okukebera obunyogovu: Ddira ekitundu ky'obusa obukamule mu ngalo zo. Singa ekyokulabirako kimenyeka (kufuumuuka), olina okufukirira ekifo ekyo amazzi agasingawo. Singa amatonnya matono galabika wakati w'engalo zo, obunyogovu buba butuufu. Singa amazzi gakulukuta wakati w'engalo zo, amazzi gaba mangi nnyo. Mu mbeera eyo, leka okufukirira era obireke bikale obutono.

205⸱3

205⸱4

Akakodyo

Kola ekigezo ky'omukono okukebera obunyogovu: Ddira ekitundu ky'ekyoto ky'obusa obukamule mu ngalo zo. Singa ekyoto kimenyeka (kufuuka obufufu), olina okufukirira ekifunvu ekyo amazzi agawera. Singa amazzi gatonnya wakati w'engalo zo, obunyogovu buba butuufu. Singa amazzi gakulukuta wakati w'engalo zo, olina okukyusa ekifunvu okukirongoosa, kuba amazzi gaba mangi nnyo.

Akakodyo

Okukemebwa kw'ekisasi ky'ekyuma okukebera obushyu bwa kibira: Ssa ekisasi kya mita 40 mu mutima gw'ekibira era kirekeewo okumala eddakiika ezimu. Kikwateko n'omukono gwo nga weegendereza, kubanga kinaaba kya bulungi. Bw'oba tosobola kukikwata, kyusa ekibira okwongera okufuuwa. Singa kiba kya bugazi (kyangu okukwata n'omukono), teekamu amazzi agasingawo.

Akakodyo

Singa enkuba etonnya mu kiseera kyonna mu myezi esatu oba ena egy'okukompostingo, omugundu gusaanye okubikkibwa n'ekitimba kya pulaasitika singa kibaawo okwewala nti ebitundu ebirungi byonna bisukkulumye.

205⸱5

205⸱6Okusaba

  • Okwekebejja eby'obugagga ebiri mu ttaka kikolebwe okusobola okumanya obungi obwetaagisa okussibwamu, okusinziira ku byetaago by'obugagga ebiri mu ttaka.
  • Okusinzira ku mbeera ezisanzibwa, kilo emu okutuuka ku bbiri z'obusa bw'ekyeya ziteekebwa ku buli kimera kya kkaapi ekiggya oba ku ttale ly'ekkaapi eririmu dda.

Entereka

Nakavundira alina okukozesebwa amangu ddala nga atuuse.

Singa kino tekisobose, Nakavundira yandibadde aterekebwa n’obwegendereza mu kifo awatatuuka musana na nkuba, oba okubikibwa mu ttaka oba ne ttundubaalioba okutekebwa mu nsawo okusobola okumukuuma nga akyaalimu ekiriisa n’obutagattibwaamu birala.

Bwaterekebwa obulungi, asobola okumala ekiseera nga tayonoonese.

205⸱EEmigaso Mubyenfuna

Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Okuddamu okukozesa ebisigalira

Omuwendo ku bisigalira gweyongera kubanga bye bikozesebwa mu ndagiriro eno ate nga bisangibwa ku faamu oba mu kitundu, ekyokulabirako , obusa obuva mu nte, ebisoolosooli ebiva ku nnimiro. Mu kukozesa ebisigalira bino, kikendeeza ku nsiimbi omulimi z’asaasanya singa aba wa kubitwala awateekebwa ebisasiro eby’olukale.

205⸱FEmigaso gy'obutonde

Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono

Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.

Okuddamu okukozesa ebisigalira

Okuddamu okukozesa ebisigalira by'ebintu mu mwetoloolo gw'enkulaakulana kiyamba okutaasa obutasaasaanya nnyo. Kino kikendeeza ku kwonoona obutonde, okufulumya ery'omukka gwa kaboni, n'okwonoona amazzi.

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

205⸱GOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma

205⸱HEbirowoozo