okukuba obulungi obwa byuma mu ttaka

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Brazil, Gwatemala, Honduras, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

302⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

• Okwongera okuyingira kw’amazzi mu ttaka
• Okutebenkeza obunyogovu bw’ettaka
• Kimulungula emmere y’ebirime nekyongeza ku ndya
• Kikendeeza buzibu bw’okukala kw’emwanyi
• Okwongera ku bungi bw’amakungula g’emwanyi
• Okukekkereza amazzi

Enkola eno ey’okufukiriza obuccupa eyamba amazzi okukka mpola mpola okutuuka ku mirandira gy’ekimera. Kino kyefananyirizaako enkola y’okufukiriza empiira empumulemu obutuli mu nnimiro (Drip Irrigation). Enkola eno ekozesebwa ku birime ng’emwanyi ento, enva, endirwa, emiti, ng’eccupa etekebwa ku buli kikolo. Tesosola kika ky’ettaka era ekola ku busozi oba omuseetwe.

Ebimera ebito naddala ebyakasimbibwa bisanga okusomezebwa mu kiseera eky’ekyeeya nolwkyo bisaana okufukirirwa okuviira ddala nga byakasimbibwa. Enkyukakyuka mu mbeera y’obudde eyongera okussajjula embeera eno kubanga ereeta ebbugumu eringi n’obuwanvu bw’ekyeya.

Okufukiriza akaccupa kajjuze amazzi, olyoke okasulike mu ttaka okumpi n’ekikolo ky’ekimera. Kino kiyamba ettaka okubugaana amazzi obulungi nekiviirako amazzi okutandika okutonyolokoka okumala ekiseera ekiwanvu ku mirandira gy’ekimera, era amazzi gyegakoma okubeera mu ccupa, ekimera gye kikoma okugafuna. Empewo eva mu ttaka bweyingira muccupa, kiyambako eccuupa okuta amazzi olwo negeyongera okutonyolokoka.

Enkizo ey’amanyi eri nti amazzi tegoonoonebwa kuba gateekebwa awo wenyini we geetaagibwa ekimera ne gakozesebwa. Okufiirizibwa kw’amazzi okuva ku kufuumuuka n’okulukuta kw’amazzi kuba kutono.

Okunoonyereza okwakolebwa mu Uganda ku ndokwa z’emwanyi za Robusta, abalimi baategeeza nti mu bulimiro bw’emwanyi obwakozesebwa okufukiriza obucupa zaakwata 100/100 bw’ogeraageranya kw’ezo ezitaafukirizibwa na bucupa. Ezitafukirizibwa na buccupa zaakwata ebitundu 30/100 byokka (Laba: osome ebisingawo wammanga).

302⸱BOby’okufumintiriza

Enkola eno ekola\esaanidde ku bimera ebito n’ennimiro entonotono, tegwanidde ku nnimiro ennene oba emiti eminene kubanga eccupa tesobola kutuukiriza bwetaavu bw’amazzi mu bungi.

Obucupa bwa pulasitika bwa layisi era enkola eyongerako omugaso gwa kasasiro nga tonnamusuulayo. Naye obucupa bungi obuyinza okwetaagibwa nga buli ndokwa yeetaga akacupa kamu. Kino kisobola okuba ekisoomoozo mu bitundu by’ebyalo.

Obucupa bwonna bulina okuŋaanyizibwa nga bumaze okozesebwa n’obusuulayo mu ngeri entuufu okwewala okukyafuwaza obutonde bw’ensi.

Ekiseera ky’okukozesezaamu obucupa: Mu biseera eby’ekyeya n’okutonya kw’enkuba etamatiza naddala nga tusimba, endokwa zeetaaga okufukirira emirundi egiwerako okusingako emiti emikulu.

302⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

302⸱1Okusaba

Akakodyo

Singa kyetaagisizza, ekijimusa ekimulunguka kisobola okutabulwa mu mazzi agafukirira.

302⸱2

Akakodyo

Ekimera n’akacupa bisobola okwetooloozebwako emiteteme gy’ebitooke egitemeddwatemeddwa nga jikyali mibisi. Emiteteme gikola ng’ekibikkisibwa ne kikendeeza amazzi agava mu ttaka okufumuuka. Emiteteme emibisi gibaamu amazzi mangi ekiyambako okwongera amazzi mu ttaka. Bwe bivunda byongera ebiriisa mu ttaka.

302⸱3

Ebibikkisibwa ebirala bisobola okozesebwa naye biteekeddwa okuteekebwa okuva ku kikolo ky’emwanyi mu buwanvu bwa sentimita 15 (cm)/0.5 fuuti.

302⸱DEmigaso Mubyenfuna

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

302⸱EEmigaso gy'obutonde

Okukekkereza amazzi

Enkola eno ekekkereza amazzi bwe gabanga tegalabikalabika.

302⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma

302⸱GEbirowoozo