Omuwundu gw'enjuba

#401Olwaniko Olukozesa Amaanyi g’Enjuba Okukaza Emwaanyi

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Brazil, Gwatemala, Honduras, Indonezya, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

401⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Kikendeeza kubudde bw'okukalizaamu emwanyi n’ebirime ebirala
  • Okukuuma emwaanyi obutatukibwako nfuufu, mazzi wamu n’ebikyafu
  • Nekyongeza ku mutindo gw’ewanyi

Olwaniko lukozesebwa okwongera omutindo ku mwaanyi nga lukozesa amaanyi g’enjuba. Kino kiba kiyumba nga kiriiko ekiveera ekitangaala nga kisabikiddwa ku fuleemu n’obutimba obuteekebwako emwaanyi. Bw’ogeraageranya n’enkola eya bulijjo ey’okwanika emwaanyi, enkola eno ewa emwaanyi obudde obumala okukala nga tekisinziira ku mbeera ya budde. Omutindo kitegeeza emwaanyi nga nyonjo, endabika y’omuwula gw’ emwaanyi, akawoowo n’eddekende.

Mu mbeera eya bulijjo, emwaanyi zikazibwa nga tezibikkidwako, mu banga wansi ku seminti, ku matundubaali, ku meeza wagulu oba ku butimba. Kino kiziteeka mu kabi k’okukubibwa enkuba n’okugendamu obukyafu, obusa bw’ebisolo oba obuwuka, era oluusi zitera okuwuumba, ekintu ekitta omutindo. Enkyukakyuka y’embeera y’obudde ereetawo sizoni z’enkuba okukyuka, omuzira n’omuyaga, byona ebireetera embeera okwongera okwonooneka.

Mu lwaniko olukozesa amaanyi g’enjuba emwaanyi zisaasanyizibwa munda ku katimba. Waggulu ne mu njuyi wabikkibwa n’ebiveera ebitangaala ebikkiriza omusana okuyitamu.

Endowooza eri nti,okwokya empewo eri munda nga tukozesa amaanyi g’enjuba kikendeeza amazzi mu mpewo eri munda. Empewo bw’ekwatagana n’ emwaanyi esika amazzi agali mu mwaanyi ekiviirako emwaanyi okukala. Olw’okuba wabeerawo enjawulo mu bbugumu eriri mu mpewo munda mu kiyumba n’e wabweru, empewo etambula n’esaasaana. Mu ngeri eno, emwaanyi ziggwamu amazzi ne zikala. Ekivera kyongera ebbugumu mu mwaanyi n’okukala amangu awatali kutataaganyizibwa mbeera yabudde. Emwaanyi ziziyisibwaokunywa amazzi mu budde bw’ekiro kubanga obumooli buggalwawo.

401⸱BOby’okufumintiriza

Okukozesa olwaniko olukaza emwaanyi nga lukozesa amaanyi g’enjuba kirungi eri omulimi naddala mu bitundu ebitonyamu enkuba mu biseera by’amakungula. Ku balimi abalimira awatono ( paka ku yiika 3), enkola eya bulijo ey’okukozesa amatundubaali nga bakyusa emwaanyi y’enkola entuufu. Naye, olw’enkuba etonnya nga tetegeerekeka enaku zino, enkola ey’okuzimba olwaniko olukaza emwaanyi y’andibadde ekozesebwa abalimi bona.

Olwaniko luno lusobola okuwaangaala emyaka munaana nga lukola bulungi, okugyako ekiveera kikola emyaka ebiri kw’esatu , era kiba kirina okukyusibwa nga kyonoonese.

Ekiseera: Okukendeeza obudde mwokaliza emwaanyi n’ebitundu 30%-40%.

401⸱CEkutekesa mu nkola

Entereka

Tereka emwaanyi enkalu mu kutiya ezirina okuterekebwamu emwaanyi.

Ensawo z’emwaanyi ziteeke wagulu ku kituuti okuva wansi ku ttaka.

Mu tterekero temulina kubaamu dagala lyona likozesebwa mu nimiro emwaanyi ze lisobola okunywa.

Etterekero lirina okubaamu obumooli okusobola okuyisa empewo obulungi okwewala amazzi mu banga.

Emwaanyi bwe ziterekebwa okumala omwezi, zirina okukeberebwa, bwe mubaamu amazzi, ziddemu zaanikibwe.

Emwaanyi zeetaaga zisunsulwe nga tewanayita nakku 30 bwe kiba kisoboka

401⸱DEmigaso Mubyenfuna

Omutindo gw’emwanyi omulungi

Ekiwandiko kino kiyamba okutumbula omutindo gw’emwanyin’enyingiza y’omulimi neyongera.

Kikendeeza ensasaanya ku bakozi

Enkola eno eyinza kwetagisa abakozi nebikozesebwa ebiwerako mu ntandikawa. Wabula, emigaso gyayo mudda ekenddeza obwetavu mu bakozi ekiretawo okukekereza. 

401⸱EEmigaso gy'obutonde

Okusiga ensimbi mu kukozesa amaanyi

Ekyuma kino tekisaba masannyalaze oba okwokya amafuta. Kino kiyamba okukuuma ebyobugagga era kikendeeza ku bungi bwa CO₂ mu bbanga.


401⸱GEbirowoozo