Ebimera ebisibibwa okubikka ettaka

#204Ebimera ebisimbibwa okubikka ettaka

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Brazil, Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

204⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Bikuuma amazzi, obunnyogovu n’ebbugumu mu ttaka.
  • Birwanyisa okukulugukka kw'ettaka.
  • Bikendeeza okumera n‘okukula kw'omuddo mu nnimiro.
  • Byongera embeera ennungi mu ttaka n'okukuumiramu ebintu ebiramu.
  • Byongera obulamu mu ttaka.

Ebimera bino ebisiimbibwa okubikka ettaka oba ebiyitibwa ebibikisibwa ebiramu, byekuusa ku bimera eby'enjawulo ebiyinza okusimbibwa buli sizoni oba buli mwaka okubikka ettaka elyereere.

Ettaka bwelibeera elyereere kibeera kyangu nnyo okukulugusibwa amazzi n’empewo kubanga omusana ogulyaakako obutereevu gulikaza nnyo. Kino kyeyongedde nnyo olw’enkyuukakyuka mu mbeera y’obudde.

Okusiimba ebimera bino ebibikka ettaka wakati mu mabanga g'emiti gy‘emwanyi kiyamba okukendeeza ku butyabaga obuva ku nkyuukakyuka mu mbeera y'obudde. Bino biyamba ettaka obutatukibwaako musana butereevu n’okuziyiza okutonyebwaako obutereevu amatondo g’enkuba amanene, era kiyamba okukendeeza ku kukulugguka n’okulikuumiramu obunyogovu. Emirandira gy’ebimera bino bwegikka mu ttaka gyongera amazzi g’enkuba okutuuka ewala, era gyongera ne nakavundira mu ttaka bwegivunda. Ebimera bino era birwanyisa n‘okukula kw'omuddo. Bwe biba bikuze nnyo oyinza okubisaawa, ebivuddeko ne bikozesebwa nga ebibikisibwa wansi mu miti gy’emwanyi.
Ebimera bino bya njawulo era birina emigaso egyenjawulo emirala: Ebimera ebiri mu kika kya Lejuminaasi (Leguminous) byongeza ekiriisa kya nayitulogeni(nitrogen) mu ttaka. Ebimera ebifaanana ng'omuddo bisaayibwa era birina emirandira mingi nga bino byombi byongera nakavundira mu ttaka. Emirandira gyabyo eminene era egy'amaanyi giyamba okwaasa n‘okutobeka ettaka erigumidde. Era emirandira gino, gya mugaso nnyo mu kunoonya n‘okufuna ebiriisa, okusinga nitrogen, okuva mu bisigalira by‘ebimera ebyasimbibwa mu bifo bye bimu edda. Oluvannyuma lw'okusaawa omuddo negukozesebwa okubikka, ebiriisa bino biddamu okufunibwa emwanyi. Era oyinza okusalawo okubikozesa nga emmere y‘ensolo, oba okuvaamu ensiimbi ez'okwongera ku nnyingiza.
Okuganyulwa okulala okutali kwa butereevu okuva mu bimera bino ebisimbibwa okubikka ettaka kwe kuba nti bikendeeza ku maanyi n'obukambwe bw'ebiwuka n'endwadde ezitali zimu ezirumba emwanyi mu ngeri bbiri. Esooka, bikuumira amazzi mu ttaka emwanyi n’etakosebwa, n‘ebeera ya maanyi era n’esobola okwerwanako, eyokubiri eri nti olwokuba bitereeza embeera y’obutonde bwettaka, kikendeeza ku buwuka obuleeta endwadde obuzaalibwa mu ttaka.

204⸱BLaba akatambi

204⸱COby’okufumintiriza

Ebimera bino ebikozesebwa okubikka ettaka birina okuba nga bya maanyi, tebyetaaga nnyo birisa oba amazzi, era tebirina kwetaaga kugimusa oba okufukirirwa nnyo. Kino kikendeeza ku budde n'ensimbi ezikozesebwa mu kubirabirira. Wabula, birina okulabirirwa obulungi okulaba nga tebikula nnyo kuvuganya n‘emwanyi ku birisa n'amazzi.

Kyetaagisa okumanya nti ebimera bino ebimu ebisimbibwa okubikka ettaka birina obusobozi obw'okweyongera mu bungi mu bbanga ttono, era bisobola okuwalampa n‘okwezingirira ku miti gy’emwanyi ekiyinza okugikosa.

Okulongooka kw‘ettaka kulina okulabika nga wayise omwaka gumu oba ebiri. Ettaka lijja kuba liyiikayiika era nga lirina obubonero obulaga okweyongera kwebintu ebiramu ebitonotono, okugeza nga ebiwuka, ensiring‘anyi n’ebirala.

Eby'obudde

Ebimera bino ebisimbibwa okubikka ettaka birina okusimbwa nga sizoni y‘enkuba yakatandika.

204⸱DEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Ebimera bino byonna ebyogedwaako wano biva mu kika kya Lejumuzi (Fabaceae). N‘olwekyo, birina obusobozi obwongera ekirungo kya Nayitulogeni(Nitrogen) mu ttaka eryo ekyetaagibwa emwanyi.

Mucuna pruriens (Kawumpuli)

Mucuna pruriens kimera ekikula enyo era ekiwalampa, kyongera obugimu mu ttaka n‘amakungula amalungi.

Canavalia ensiformis (Ekijanjalo ekyeru ekinene oba eky‘ente)

Canavalia ensiformis kimera ekyeyambisibwa okuzza obugimu mu ttaka eritali ggimu, era kirina obusobozi bw'okugumira ekyeya n'ekisiikirize. Kirimibwa mu ngeri enyangu era kisobola okusimbibwa awamu na buli kimera kyonna ekirala. Kikula bulungi ne mu kiseera ky'omusana ogw'amaanyi.

Cajanus cajan (Enkolimbo)

Obulungi bw‘enkolimbo kwe kuba nti ekula mangu n‘ekola ekisaka ekisobola okuwa emwanyi ekisiikirize eky'ekiseera. Ekisiikirize kino kikendeeza ku bbugumu okwetoloola emwanyi. Kikwetaagisa okusalira ekisaka kino buli myezi mukaaga okusobola okubeera n‘ekisiikirize ekigasa emiti gy‘emwanyi.

Crotalaria sp. (Crotalaria)

Ekirungi ku Crotalaria sp. (Crotalaria) kwe kuba nti akula mangu n’akola ekisaka ekisobozesa okuwa emwanyi ekisiikirize eky'ekiseera. Crotalaria akula mangu, mu myezi 3 oba 4, agumira ekyeya era akula bulungi mu ttaka elitali ggimu. Alina obusobozi bungi okuzza ekirungo kya Nayitulogeni (nitrogen) mu ttaka.

204⸱1Okwetekateka

Akakodyo

Kiba kirungi okubeera n’amabanga agamala obulungi mu mwanyi zo (nga wansi wa mita 2.5 / fuuti 8 (Arabica) oba mita 3 / fuuti 10 (Robusta)), okusobozesa embeera ennungi ey'okukula kw'ekimera kyolonzeewo n’emwanyi.

204⸱2Okusiga

204⸱3Endabirira

Akakodyo

Ebimera ebiwalampa bingi bisobola okulimibwa ku miti egibikwaatirira.

204⸱4

204⸱5

204⸱6

  • Mu biseera eby’ekyeeya, kirungi okubikka ettaka nga okozesa ebisaayiddwa bingi, kubanga kiyamba mu kukendeeza amazzi agava mu ttaka.

204⸱EEmigaso Mubyenfuna

Kikendeeza ensasaanya ku bakozi

Enkola eno eyinza kwetagisa abakozi nebikozesebwa ebiwerako mu ntandikawa. Wabula, emigaso gyayo mudda ekenddeza obwetavu mu bakozi ekiretawo okukekereza. 

Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.

Okukendeza ensaasanya ku ddagala erifuuyirwa

Enkola eno ekendeeza ku bwetaavu bweddagala erifuuyirwa n'olwekyo kikendeeza ensaasanya ku bikozesebwa okutwaliza awamu.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Kyongerako ensibuko y’ensimbi

Enkola eno erina obusobozi okwongera ku makubo agayingiza sente.

204⸱FEmigaso gy'obutonde

Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono

Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.

Tewetaaga ddagala lya kufuuyira lingi

Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’eddagala erifuuyirwa. Kino kikendeeza okwonoona amazzi, kikuuma obutonde bw'ensi, kyongera obulamu bw'ettaka, era n’okukuuma eby'obugagga.

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

204⸱HEbirowoozo