ekidomola ekifuuyira kiri kufuuyira eddagala ly'ensiri ku kimera .

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

109⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Okukendeeza ku biwuka eby’obulabe eri ebirime bya ffe
  • Okukendeeza ku mwanyi eziffa
  • Okwongeza ku makungula g’emwanyi
  • Okutumbula omutindo gw’emwanyi

Omukyuzi gwa Muluku(Tephrosia vogeii) gusobola okukozesebwa nga edaggala erirwanyisa ebiwuka ebiyiganya ebirime bya ffe. Edaggala lino liraze obusobozi okulwanyisa ebiwuka nga:

  • Mealybugs (Empumbu)
  • Mites
  • Aphids

Okutwalira awamu, emikyuzi gy’ebirime eby’obuzaliranwa, byetuyita edaggala ly’ebiwuka, gyisobolera ddala okulwanyisa ebiwuka ebimanyidwa enyo mu kuyiganya Emwanyi. Ku ddala elyawaggulu ddala, edaggala lino lisobola okukendeeza obungi bw’ebiwuka ebiyiganya Emwanyi, nekitusobozesa okubeera n’Emwanyi enamu obulungi, amakungula ageyongede n’omutindo ogwawaggulu. Omugaso gw’edaggala ly’obutonde ng’oligerageranyiza kuly’ekizungu, gul inti, likola kw’ekyo ekiwuka kyoka ekilubirirwa, linabuuka era lisaanawo oluvanyuma lw’akabanga nga limaze okukola, silyabeeyi ate lifunibwa mu bwangu okuva mu birime ebitwetolode. Nolwekyo okulyetanira n’okulikozesa mu nkola e’yengeri ezenjawulo mu kulwanyisa ebiwuka n’endwadde, kivaako obuwangazi bw’enimiro zaffe ez’emwanyi, okukuuma embeera y’obutonde, era n’okutumbula eby’obulamu bw’abalimi n’abanwi ba kaawa.

109⸱BOby’okufumintiriza

Edaggala ly’ebiwuka ely’obutonde ssi lyabulabe eri ebiwuka ebiyiganya ebirime byaffe byokka,wabula n’eri ekirime kyaffe eky’emwanyi singa liba likozesedwa mu bungi obuyitiridde. Obulabe obuva mu nkozsa embi buli, okuzing’ama kw’emwanyi, okuwotokerera n’okuperuuka kw’omubiri gw’emwanyi. N’olwekyo kikulu nyo okukozesa obungi n’ebirungo ebigezesedwa era ebyalagirwa. Okulaga emigaso gyona, edaggala lino lirina okukozesabwa ng’emu kunkola ezenjawulo mu kulwanyisa endwadde n’ebiwuka mu mwanyi, okwo kwossa enkola endala nga ebiwuka ebiyiganya ate ebyo eby’obulabe eri emwanyi zaffe, n’enkola ez’obuwangwa andala, okukakasa nti ebiwuka tubisanyizawo ddala.

Era, okulambulanga n’okwekenenya obungi bw’ebiwuka mu nimiro yaffe kikulu nyo eri okulaba nti tuterezaamu mu ngeri z’okulwanyi ebiwuka n’endwadde, ate era n’okusalawo kungeri ezo.

Ebiseera

Omukyuuzi gwa Muluku gulagirwa okukozesebwa mubwangu ddala nga ebiwuka byakatandika okulumba ekirime kyaffe. Okufuyira olwo nekuddibwamu buli luvanyuma lwa nnaku kumi na nya.

109⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Mu Bomba eya lita 20:

Kintu 1

109⸱1Okwetekateka

109⸱2Emitendera

Wegendereze

Ebikoola bino tobiteeka mu musana, biteeke mu kisikirize okusobola okukuuma obusimu bwabyo.

109⸱3

109⸱4

Wegendereze

Ekitooma kya Tephrosia oba amazzi agakozesebwa okugafuna TEKIRINA kulyibwa kubanga kya bulabe. Era kisobola okulemesa obulamu bw'ebinyonyi ebiri mu mazzi. Noolwekyo, okwegendereza kwekuliisa bwe kunaaba kunaabawo okunaaba ebyuma nga tewali masalira ga kyo agayiika mu mazzi.

109⸱5Enkozesa

Oluvanyuma lw’ebiragiro ku nteekateeka nga bw’erambikidwa waggulu, ojakufuna ekirungo ekituufu oky’omukyuuzi gwa Muluku nga edaggala ly’obutonde.

Wegendereze

Kikulu nyo okukozesa ebirungo ebigezesedwa, ebiragidwa, era mu bungi obutuufu, elwe’’ensonga nti edaggala lino lisobola okuba ery’obulabe eri ekirime kyaffe.

Akakodyo

Kyandibade kirungi okufuyira mu biseera ng’omusana si mungi, okugeza nga kumakya oba olweggulo, kubanga omusana guno guyenjebula obutofari obukola edaggala lyaffe, neligwamu amanyi nga terinakola

Entereka

Edaggala litereke mu kifo ekikakamu, kyekusifu nga tekitukamu musana.

Litereke mu mukebe oguliko ekisanikira okusobola okulikuuma n’obukambwe bwalyo.

109⸱DEmigaso Mubyenfuna

Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Okufirizibwa kukendeera

Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.

109⸱EEmigaso gy'obutonde

Obwetaavu bw’edaggala bukendeera

Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

109⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma

109⸱GEbirowoozo