ekidomola ekisirisa kisirisa kamunguluze ku kimera kya kawa .

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

110⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Okukendeza obuwuka obwobulabe mumwanyi
  • likendeza kukukala kwemiti gyemwanyi
  • lyongera kukubala kwemwanyi
  • litumbula omutindo gwemwanyi

Amazzi agakamulidwa okuva muntangawuzi gakozesebwa okulwanyisa ebiwuka mubirime nga emwanyi. Entagawuuzi erimu ebirungo ebyenjawulo ebisobola okuuta, awamu n’okutangira ebiwukka. Era ebirungo binno bisoborera ddala okutataganya endya, enkula awamu nenzala yebiwuka.

Amazzi agakamulidwa muntagawuzi gakakasidwa mukulwanyisa ebiwuka byemwanyi nga:

  • Obuwuka obulya ebikola bye mwanyi ( Coffee leaf Miner)
  • Nobuwukka obuwumula ebituli mumpeke zemwanyi (Coffee Berry Borer)

Mukutwaliza awamu waliwo ebimera binansagwa ebyenjawulo ebisobola okukamulwamu amazzi agasobola okukozesebwa mukutangira/okulwanyisa ebiwuka ebisinga okukosa/okulya emwanyi. Amazzi gano gasobolera ddala okukendeza kukusasana/okwalula kwebiwuka mubirime, ekintu ekisobozesa okwongera ku mbala yemwanyi ennungi, nokwongera kumakungula n’omutindo.

Egimu kumigaso gyeddagala erikamulidwa mubulime okutta ebiwuka okusinga kuddagala erizungu kiri nti litta obwo bwoka obuwuuka obubabugenderedwa okutibwa, ekyokubiri nti livunda nerigwawo, lyetagisa ssente ntonno nnyo mukulikola ate nebikozesebwa bisobooka okufunibwa amangu mubitundu byonna. N’olwensonga ezo wagulu, okwetanira enkozesa yedagala elikamulidwa mu birime nga ogaseko enkola ezenjawulo mukulwanyisa ebiwuka nendwadde, sako okutumbula enima eyomulembe empagazi era etakosa butonde bwansi, obulamu bwabalimi awamu nabo abalya ebirimidwa.

110⸱BOby’okufumintiriza

Edagala elikamuddwa okuvva mubirime nalyo lirina obulabe bwerisobola okutuusa kukirime nga emwanyi singa libeera likozesedwa mubipimo ebiyitiridde obungi, okugeza lisobola okukonzibya, okukaza, n’okukyusa endabika ye bikooka bye mwanyi. Nolwensonga eyo omulimi kirungi nagoberera ebipimo ebirambikidwa munkozesa.

Okusobola okulagawo enjawulo, eddagala erikamulidwa mubilime oba muntangawuzi kirungi nelikozesebwa wamu nenkola enansagwa ezokutta awamu n’okutangira ebiwuka n’obulwadde mumwanyi nga okukozesa ebiwuka ebirala okulya obuwuka obutta ekirime, kino kiyambako mukukendeza okuzala n’okusasaana kwobuwuka obukosa emwanyi.

Kirungi era okulambula entakera enimiroyo okwekenenya oba obuwuka nendwade byeyongera okusasana/ obuwuka bweyongera okwalula munimiro osobole okufuna amagezi agenjawulo okusobola okusalawo obulungi okutangira okussasana kwobuwuka nedwadde.

Ebiseera mwosobolera okukozesa edagala lino

Kirungi okukozesa edagala elikamulidwa muntangawuzi amangu ddala nga okizudde nti obuwuka buzinzeko ennimiroyo era nga tebunasasaana nnyo, fuuyira eddagala lino buli luvanyuma lwanakku kkumi nannya (14)

110⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Ebyetagisa mukutabula edagala mu bomba eya liita abiri (20lts):

Kintu 1

110⸱1Okwetekateka

110⸱2Emitendera

110⸱3

110⸱4Enkozesa

Nga ogoberera endagiriro eyo wagulu osoborera ddala okufuna eddagala lya mazzi gentangawuzi erisobola okutta nokutangira ebiwuka mumwanyi.

Wegendereze

Kirungi okutabula ebigero/ebipimo byokufuyira ebya kanyizibwako mubuka bwabyo ebituufu okusobola okukola obulungi era n’okwewala okukosa ekirime.

Akakodyo

Kirungi ofuyire mubudde obukkakamu nga obudde bwokumakya nga sulwe awedeko oba olwegulo okusobozesa edagala okuyingira obulungi kumwanyi nga telifumuse bufumusi

Entereka

Eddagala eriwedde okukolebwa litereke mukifo ekiwewera obulungi era nga tewatukawo kitangala namusana.

Litereke ngolisanikide mukitu omutayita mpewo okusobola okukuma obukka bwalyo.

110⸱DEmigaso Mubyenfuna

Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Okufirizibwa kukendeera

Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.

110⸱EEmigaso gy'obutonde

Obwetaavu bw’edaggala bukendeera

Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

110⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma

110⸱GEbirowoozo