
#111Eddagala ly’obutonde elitta obuwuka elikamurwa mu Katungulu ccumu
111⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Likendeeza ku biwuka
- Likendeza kukukala kw’emiti gy’emwanyi
- Lyongeza ku kubala kw’emwanyi
- Litumbula omutindo gw’emwany
Katungulu ccumu alimu ekirungo kyakaloosa akasiki.
Katungulu ccumu akola bulungi mu kulwanyisa:
- Obuwuka obulya ebikola bye mwanyi (Coffee leaf Miner)
- N’obuwuka obuwummula ebituli mu mpeke z’emwanyi (Coffee Berry Borer)
- Akawuka akleeta oluvvu ku mirandira gy’omuti gwemwanyi (Mealybugs)
- Obuloolo (Mites)
- Muwempe Aphids
Okutwaliza awamu amazzi agakamuliddwa okuva mu bimera bi nansangwa, (Agayitibwa eddagala lyobutonde eritta obuwuka) lisobola okuziyiza ebiwuka ebisinga okukosa emmwanyi. Lisobolerera ddala okukendeza kwebiwuka ekyongeza ku bulamu bwomuti, amakkungula n’omutindo.
Emigaso gikozesa eddagala ly’obutonde erita ebiwuka okusinga eddagala ezzungu:
- Litta ebiwuka byokka ebiba bigendereddwa okuttibwa
- Bweriyibwa kuttaka, livunda era nerigwawo,
- Lya ssente ntono ate nebikozesebwa buyangu kufuna.
N’olwekyo, okwetanira enkozesa y’eddagala elikamulidwa mu bimera, sako n’enkola endala ez’okulwanyisa endwadde n’okutta ebiwuka kyongera ku nnima y’emwanyi ey’omulembe, okukuuma obutonde bwensi n’okutumbula obulama bw’abalimi n’abalya ebiriiddwa.
111⸱BOby’okufumintiriza
Eddagala elikamuliddwa okuvva mubimera eritta obuwuka, terikosa biwuka byokka wabula lyabulabe eri ekirime ky’emwanyi singa liba likozeseddwa mu bipimo ebinji. Obulabe obwo mulimu okukozimba, okuwotoka n’okumyukirira n’olw’ekyo kyamugaso okukozesea ebipimo ebikakasiddwa era ebirambikiddwa okuva mu kunonyereza.
Okulaga enjawulo ey’omuggundu, eddagala ly’obutonde eritta obuwuka lirina okukozesebwa mu nkola eyokuziyiza nokulwanyosa endwadde n’ebiwuka wamu n’enkola endala omuli ebiwuka ebirya ebiwuka ebyobulabe, wmau nenkola nga; Okukoola, okusalira nokusimba emwanyi ezigumira endwadde n’ebiwuka.
Okulambula entakera enimiroyo okwekenenya okumeruka kw’obuwuka okusobola okukola okusalawo okutuufu mu kulwanyisa ebiwuka mu nnimiro.
Ebiseera mwosoborera okukozesa eddagala lino
Eddagala elikamuddwa mu katungulu ccumu lisanidde okukozesbwa amangu ddala nga ebiwuka bya kazinda enniniro yo era ofuyira buli luvanyuma lwennaku ntono oba ng’enkuba yakamala okutonya ngolwanyusa obuwuka. Osobola nokukozesa eddagala eriva mu katungulu ccumu buli wiiki omulundi okwewala ebiwuka mu nnimiro yo.
111⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
Ebyetagisa okukola eddagala mu bomba eya litta 20
Kintu 1
111⸱1Okwetekateka
111⸱2Emitendera
111⸱3
111⸱4
111⸱5
111⸱6Enkozesa
Wogoberera emitendera egyo waggulu, ojja kuba nga omaze okwefunira eddagala ely’obutonde okuva mu katungulu ccumu erita ebiwuka.



Kirungi okutabula ebipimo byokufuyira byoka ebyakakasibwa kubanga bisobola okukoza ekirime ky’emwanyi.
Kirungi ofuyire mubudde obukkakamu ng’obudde bwa kumakya nga sulwe awedeko oba olw’eggulo okusobozesa eddagala okuyingira obulungi kumwanyi nga telifumuse.
Entereka
Bbomba n’eddagala bitereke bulungi mu firiji
111⸱DEmigaso Mubyenfuna
Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.
Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.
Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
Okufirizibwa kukendeera
Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.
111⸱EEmigaso gy'obutonde
Obwetaavu bw’edaggala bukendeera
Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.
Obulamu bw’ettaka obulungi
Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.