ekifaananyi ekikozesebwa mu katemba ekiraga eccupa ey'okufuuyira , akawuka , ne kikuta kya ppeesa .

#112Eddagala ly’obutonde elitta obuwuka elikamulibwa okuva bikuta byomuti gw’omuccungwa

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

112⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Likendeeza ku biwuka n’endwadde
  • Likendeza kukukala kw’emiti gy’emwanyi
  • Lyongeza ku kubala kw’emwanyi
  • Litumbula omutindo gw’emwanyi

Amazzi agakamulidwa mu bikuta by’omuti gw’omuccungwa lisobola okukozesebwa mu kulwanyisa obuwuka. Amazzi galimu ebirungo bya Asidi bingi ebiyambako mu kulwanyisa ebiwuka n’okugumya obutafali bw’omuti okulwanyisa endwadde nga tewali kutataganya nkula yaggwo.

Amazzi agakamulidwa mu Kikuta kyomuti gwomuccungwa kasobola okulwanyisa endwadde zino wammanga:

  • Obuwuka obulya ebikola bye mwanyi (Coffee leaf Miner)
  • N’obuwuka obuwummula ebituli mu mpeke z’emwanyi (Coffee Berry Borer)
  • Akawuka akleeta oluvvu ku mirandira gy’omuti gwemwanyi (Mealybugs)
  • Akawuka ka Antestia (Antestiopsis spp.)

Okutwaliza awamu amazzi agakamuliddwa okuva mu birime bi nansangwa, (Agayitibwa eddagala lyobutonde eritta obuwuka) lisobola okuziyiza ebiwuka ebisinga okukosa emmwanyi. Lisobolerera ddala okukendeza kwebiwuka ekyongeza ku bulamu bwomuti, amakkungula n’omutindo.

Emigaso gikozesa eddagala ly’obutonde erita ebiwuka okusinga eddagala ezzungu:

  • Litta ebiwuka byokka ebiba bigendereddwa okuttibwa
  • Bweriyibwa kuttaka, livunda era nerigwawo,
  • Lya ssente ntono ate nebikozesebwa buyangu kufuna.

N’olwekyo, okwetanira enkozesa y’eddagala elikamulidwa mu birime, sako n’enkola endala ez’okulwanyisa endwadde n’okutta ebiwuka kyongera ku nnima y’emwanyi ey’omulembe, okukuuma obutonde bwensi n’okutumbula obulama bw’abalimi n’abalya ebiriiddwa.

112⸱BOby’okufumintiriza

Eddagala elikamulidwa okuvva mubirime eritta obuwuka, terikosa biwuka byokka wabula lyabulabe eri ekirime ky’emwanyi singa liba likozeseddwa mu bipimo ebinji. Obulabe obwo mulimu okukozimba, okuwotoka n’okumyukirira nolwe’ekyo kyamugasi okukozesea ebpimo ebikakasiddwa era ebirambikiddwa okuva mu kunonyereza.

Okulaga enjawulo ey’omuggundu, eddagala ly’obutonde eritta obuwuka lirina okukozesebwa mu nkola eyokuziyiza nokulwanyosa endwadde nebiwuka wamu n’enkola endala omuli ebiwuka ebirya ebiwuka ebyobulabe, wmau nenkola nga; Okukoola, okusalira nokusimaba emwanyi ezigumira endwade n’ebiwuka.

Okulambula entakera enimiroyo okwekenenya okumeruka kw’obuwuka okusobola okukola okusalawo okutuufu mu kulwanyisa ebiwuka mu nnimiro.

Ebiseera mwosoborera okukozesa eddagala lino

Eddagala elikamuddwa mu bikuta by’omuti gw’omuccungwa lisanidde okukozesbwa amangu ddala nga ebiwuka byakazinda enniniro yo era ofuyira buli luvanyuma lwa nnaku kumi na nnya (14).

112⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Ebyetagisa okukola eddagala mu bomba eya litta 20:

Kintu 1

112⸱1Okwetekateka

112⸱2Emitendera

112⸱3

112⸱4Okusaba

Okugoberera ebiragiro by'okuteekateeka ebiri waggulu, onooba ofunye ekivundu kya muzigiti gwa Ginger ekikoleddwa obulungi nga bio insecticide.

Wegendereze

Kirungi okutabula ebipimo byokufuyira byoka ebyakakasibwa kubanga bisobola okukoza ekirime ky’emwanyi.

Akakodyo

Kirungi ofuyire mubudde obukkakamu ng’obudde bwa kumakya nga sulwe awedeko oba olw’eggulo okusobozesa eddagala okuyingira obulungi kumwanyi nga telifumuse.

Entereka

Eddagala eriwedde okukolebwa litereke mu kifo ekiwewera obulungi era nga tewatukawo kitangala namusana.

Litereke ngolisanikide mukintu omutayita mpewo okusobola okuuma obukka bwalyo.

112⸱DEmigaso Mubyenfuna

Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Okufirizibwa kukendeera

Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.

112⸱EEmigaso gy'obutonde

Obwetaavu bw’edaggala bukendeera

Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

112⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma

112⸱GEbirowoozo