Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Uganda

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

114⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Kitumbula ekirime mu kulwanyisa endwadde n,ebiwuka
  • Kiyamba ekirime ky’emwanyi okugumira ebbugumu n’ekyeeya
  • Kyongeza ku makungula
  • Kitumbula omutindo gw’emwanyi

Okuyunga y’enkola yokugata ebitundu byemiti ebyenjawulo okubisobozesa okukula nga biri wamu era nga bikoze ekimera kimu.Ekikgendererwa kyokugatta/ okuyunga kwe kufuna olulyo olusingako obulungi okuva mu ndyo ebbiri ezigatiddwa awamu.

Ekikolo kyekibeera wansi ku muti okuguyindwa. Kulondebwa ku kika okusinziira ku bugumu bwagwo, n’engeri gyegugumiramu embeera ez’enjawulo eziva mu butonde bwaagwo n’embeera ezetoloddewo omuli embeera y’ettaka etali nnungi, ebiwuka n’endwadde, ekyeeya nenkyukakyuka mu mbeera y’obudde.

Ettabi, kino kye kitundu ekiyungibwa waggulu ku kikolo era nga kilondebwa n’obwegendereza okuva ku muti omulamu obulungi era ogwembala bwe gufanana nogwo oba okuva mu lunyiriri lumu n’ogwo ogukola ekikolo.

Enkola eno eyamba omulimi okutumbula omutindo gw’ebirime n’okulima ensigo oba endokwa ez’embala. Okugeza okuyunga amatabi g’emwanyi za rubasta oba nyasalanda ku kikolo kya kisansa oba okuyunga ebika by’emwanyi eby’enjawulo okusinzira ku birungi ebigirimu.

Enkola y’okuyunga yakozesebwanga okwewala n’okulwanyisa obuwuka obukosa emirandira gy’emwanyi (Nematodes). Nolw’ekyo ekikolo kisaanye kuva ku kika ekigumira obuwuka bw’emirandira.

Nawatali buwuka bwa mirandira, emwanyi ya rubasta ekola ekikolo ekirungi olw’obugumu bwagwo wamu n’enkula y’emirandira okusinga ku bika by’emwanyi endala. Kino kiyamba ku kugumira embeera eziva ku nkyukakyuka mu mbeera yobudde omulienkuba embi, ekyeeya, ebbugumu eringi wamu ne ttaka ebbi.

114⸱BLaba akatambi

114⸱COby’okufumintiriza

Okuyunga kulina kolebwa bakugu. Obukugu nobumalirivu gyebukoma okuba obungi, gyokoma okujamu ebibala ebirungi.

Kikulu okukozesa okukozesa ekikolo eky’omutindo omulungi,wamu nettabi eddungi okwongeza emikisa gy’okukwaata obulungi.

Emwanyi ya Rubasta ngekozeseddwa ekikolo ebbeera nnungi nnyo singa tekozesebwa mu mu bitundu ebinyogoga ebiwanvu okussuka mita 1200 wakugulu we nsi. Kiri kityo kubanga rubasta mwanyi nansangwa era nnungi k uku bitundu ebyebbugumu. N’olwekyo, ekirime ekiyungiddwako kiyinza obutakula wamu n’okubala bulungi mu bitundu eby’obunyogovu ennyo.

Okuyunga kiwa omukisa abavubuka wamu n’abakyala okukuguka mu mirimu gino wamu n’okwenyigiramu kwabwe mirimu gy’obulimi bw’emwanyi.

Ebiseera: okuyunga okutukiridde mu meresezo kutwaala wakati wenaku 45-50 oba omwezi gumu n’ekitundu ku myezi 2.

Okuyunga kusanidde okutegekebwa obulungi nga tutunulira emirimu gya nursery (meresezo) okulaba nga ebirime ebiyungiddwa bituuka mu biseera okulaba nga okuddabiriza emeresezo wamu nokusimba ebirime ebipya tekubitataganya.

114⸱DEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Kusanidde nnyo omuntu omukugu mu kuyunga okukola emrimu gyokuyunga ebirimemu meresezo.

Ebikolo ebirina ebisanyizo bino wammanga:

  • Okugeza, rubasta, Nyasalanda, oba Kisansa okusinziira ku kitundu.
  • Enkwatagana ne ekirime ekivaako ettabi. Amawulire gafunika okuva mu bitongole bya gavumenti wamu n’ebitongole ebinonyereza.
  • Emirandira emigumu.
  • Obugumu/ okugumira ebiwuka n’endwadde.
  • Omuti omugumu.
  • Obugazi obwekana oba obusinga ku ttabi ly’okuyungako. Wakiri obunene bwa kalamu. 

Ebisanyizo by’etabi ly’okuyunga:

  • Okugeza, rubasta, Nyasalanda, oba Kisansa okusinziira ku kitundu
  • Enkwatagana n’ekikolo ky’okuyungako. Amawulire gafunika okuva mu bitongole bya gavumenti wamu n’ebitongole ebinonyereza
  • Embala ennungi okugeza okubala ennyo oba amakungula agawaggulu
  • Obulamu bwettabi nebbulwa ly’ebiwuka n’endwadde
  • Obugolokofu
  • Aoabuzai nga butono ku kikolo oba okwenkana ekikolo. Obutasuka cm 1

114⸱1Okwetekateka

Okukulaakulanya entandikwa n’ettabi ng’emmere y’ensigo:

114⸱2Emitendera

Ku lunaku lwokuyunga, goberera bino.

Akakodyo

Okuyunga kukolebwa mu budde bwa kumakya ngobudde bukyali buwewevu.

114⸱3

114⸱4

Okutegeka ekikolo

114⸱5

Okutegeka amatabi

114⸱6

Yunga ettabi ku kikolo

Akakodyo

Akaveera kanyweeza awo awasibiddwa, kiyamba okwewala amazzi okuyingira era ne kiyamba okwewala okuvunda era kiyamba nokwongeza ku bungi bwemiti egiyungibwa nga abayunzi bangi abakoze emirimu.

114⸱7

Akakodyo

Emezesezo zigaba embeera ennungi esobozesa endokwa okukwaata wamu n’okukwata obulungi nga tezinatwalibwa mu nnimiro. Emezesezo Zino (Propagators) nnungi nnyo mu bitundu singa ebiseera bokuyunga bubeera byokkya oba nga binyogovvu nnyo.

114⸱8

114⸱9

114⸱10

Wegendereze

Singa etabi lifa era nga terilaga bubonero bwa kukulama, enkola yokuyunga omuti ogwo ebeera egaanyi, era kisanidde okuddibwamu.

114⸱EEmigaso Mubyenfuna

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

114⸱FEmigaso gy'obutonde

Obwetaavu bw’edaggala bukendeera

Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.

114⸱HEbirowoozo