Komposti

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

205⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

Nakavundira Kye kki

  • Ayongera obulungi bw'obutonde bw'ettaka n'ebintu ebiramu ebirimu
  • Ayongera obulamu mu ttaka
  • Ayongera ekiriisa eri ebimera
  • Ayongera ku kubala kw‘emwanyi

Nakavundira akozesebwa wamu n’ebigimusa ebizungu oba yekka. Ayamba okwongera obugimu mu ttaka, okunyweza engeri ettaka gye lirimu, n'okuliisa ebirime, era ayongera ebirungo ebikwaatira amazzi mu ttaka okutwalira awamu.

Nakavundira akolebwa okuyita mu ngeri y’okuvunza ebisigalira by‘ebimera. Enkola eno erimu okuvunza ebisigalira by‘ebimera nga okozesa obuwuka obusirikitu obuli mu ttaka. Kino kibaawo nga omukka gwetussa (oxygen) weeguli era embeera eno erina okubeeramu ebirala nga amazzi amatonotono n’ebbugumu. Ebyogeddwaako wagulu bye bifuula ebisigalira by’ebimera biri Nakavundira omutuufu anayamba okuzaamu obugimu n‘obulamu mu ttaka.

Nakavundira ayawuka okusinziira ku bungi n’ebika by’ebisigalira by’ebimera ebikozeseddwa. Ku mutendera ogw'okutandikirwako, enkola ya Nakavundira eteekwa okukola olubugumu okuva mazzi agali mu bikozeseddwa nga amalagala, omuddo, n'ebisigalira by'ebibala n'ebirime, era n'olindirira ebintu ebyo okuvunda mu myezi mitono. Mu bulimi bw‘emwanyi, ebintu ebikulu ebikozesebwa mu kukola Nakavundira bye bikuta byaazo n'obusa oba Kalimbwe w’enkoko. Ebirala ebiyinza okukozesebwa mulimu esaaniko ne byonna ebivunda ebiva mu ffumbiro oba ebisigalira bya makungula. Nakavundira atwaala emyezi 3-4 okuwola obulungi.

Nga wayise ekiseera nga omulimi akozesa Nakavundira, kirowoozebwa nti obugimu mu ttaka bweyongera ne kikendeeza ku bwetaavu bw’okukozesa ebigimusa ebizungu. Kino kiri bwekityo kubanga Nakavundira bwakozesebwa mu bukugu, akendeeza ku mikisa gye ttaka okugwaamu ekiriisa. Okukendeera kw’obwetaavu bw’okukozesa ebigimusa ebizungu kijja kufuula Nakavundira ekintu ekisoboka mu byenfuna era ekijja okwongera mutindo n'obulamu bw'ettaka.

Kino kijja kuyamba okwongera obulungi bw’ekikula ky'ettaka n’okusobozesa emirandira gy‘emwanyi okutuuka wansi mu ttaka. Mu ttaka ery‘olusenyu, Nakavindira ayongeramu ekirungo ekyongera okulikwaatira awamu. Kino kikendeeza ku miwaatwa egiririmu ne lisobola okukwaatiramu amazzi obulungi. Mu ttaka ery'ebbumba, Nakavundira ayongeramu obuwaatwa okusobola okuyamba emirandira gy'ebimera okutuuka ku mazzi n'ebiriisa ebimera bye byetaaga, era n'empewo n‘esobola okuyita mu ttaka. N‘olwekyo, Nakavundira ayamba okuwewula ettaka ery'ebbumba ate nazitoya ettaka ery'omusenyu, ettaka eririmu Nakavundira liba lyangu okukozesa nga tukabala, tusambula oba nga tusimako ebinnya. Mu kiseera kye kimu, Nakavundira aziyiza ettaka okukulugusibwa amazzi ne Kikuunta. Kino kiva ku kuba nti amazzi gasobola okuyingira mu ttaka obulungi era enkuba etonnya tesobola kufuuka mukoka mangu. Ettaka erikwatiddwa wamu Nakavundira ssi kyangu kutwaalibwa Kikuunta.

Obuwuka obulwaza ebimera n'ensigo z’omuddo omubi bikendeezebwa nga tukola n’okukozesa Nakavundira. Kino kiyambako obutaleeta bikuta bye mwanyi butereevu.

205⸱BLaba akatambi

205⸱COby’okufumintiriza

Ebirina okulowoozebwaako

Okusookera ddala, okwekeneenya ettaka okwekikugu kulina okikolebwa nga tonnatandika kukola na kukozesa Nakavundira.

Obungi bw’ebisigalira by'ebimera n’obusa oba kaliimbwe w'ebisolo mu kukola Nakavundira, bujja kusinziira ku kiriisa ekisangiddwa mu ttaka. Okutwalira awamu, omulimi aweebwa amagezi okugatta ebikuta by’emwanyi n'obusa bwa nte mu ngeri ya bitundi bisatu(3) ku kimu(1). Bw'oba okozesezza kaliimbwe wa nkoko, oweebwa amagezi okukozesa ebitundu bina(4) ebya bikuta by’emwanyi ku kitundu kimu(1) ekya kaliimbwe. Ekigendererwa kwe kulaba nti olina ebitundu by’ebirungo ebya Kaluboni/Naayitulogeni (C/N) nga biri asatu(30) ku kimu(1) ku ntandikwa y’okukola Nakavundira.

Okwongera ku kiriisa n’omutindo gwa Nakavudira gwonofulumya, era n’okusiziira mu bivudde mu kukebera ettaka lyo, osabibwa ku okwongeramu ku birungo bya fosifeti (P) ne potasiyamu (K), okugeza nga ebiva mu mayinja ge njazi oba ebikuta bya magi ebyasiddwa. Ekirungo kya Gypsum ow'obulimi (calcium sulfate dihydrate CaSO4·2H2O) nakyo kiyinza okwetaagibwa okukendeeza ku bungi bw'ekirungo ekya nitrogen (N) ekifiira mu kukola Nakavundira wamu n’ebirugo bya kalisiyamu (Ca) ne salufa (S). Obungi bw’ebirungo ebiva mu mayinja ge njazi singa gaba gakozeseddwa gukoma ku bitundu 20% eby’obuzito.

Okukendeeza ku biseera by’otwaala okukola Nakavundiraera n’omutindo, ekirungo kya Bayokkya (Biochar) kisobola okwongerwako okutuuka ku bintundu 10% eby'obuzito. Ekiseera kyotwaala okukola Nakavundira n’emirundi g’yomukyuusa bikendeera kumpi ebitundu 30%. Kino kiva ku kuba nti biochar ayamba okwongera ku empewo emuyitamu ne mu kukola bifunfugu mu Nakavundira.

Mu nnima ey'omulembe endala ekozesa okuvunda kw'ebintu( ebisigalira bye bimera) y'enteekateeka y'okukola Bokashi. Nkola nayo ekozesa obuwuka obusirikitu(microorganisms) obilungi okwanguya okuvunda kw'ebisigalira by’ebimera (Laba ebikwaata ku Bokashi ebisingawo ku mukutu guno).

Kikulu okukolera awamu: Abalimi abakolera mu bibiina balina omukisa munene okukola Nakavundira omungi ate nga wa mutindo okusinga abalimi ba ssekinoomu.

Ebiseera: Okukola Nakavundira kutwaala emyezi nga 3 oba 4. Nakavundira yandikoleddwa bulungi mu biseera by'ekyeya nga amakugula gakaggwa kubanga ebikuta by’emwanyi bibeerawo bingi ate nga kirungi okubikozesa nga bikyaali bipya. N’ekirala waba wabulayo emyeezi ena(4) okutandika okugimusa ekitegeeza nti Nakavundira akoleddwa asobola okukozesebwa. Nakavundira asobola okuteekebwa mu nnimiro buli mwaka. Singa omulimi abeera akozesa ebigimusa ebizungu emirundi egisaanidde mu mwaka, aweebwa amagezi omulundi gumu akozese Nakavundira yekka.

Singa Nakavundira akozesebwa buli mwaka, ettaka nalyo lirina okukeberwa buli mwaka. Mu ngeri eyo, enkyukakyuka mu bungi bw’ekiriisa ekiri mu ttaka eryo esobole okulondoolwa era omuwendo gw'ebigimusa ebiizungu ogukozesebwa gusobola okukendeezebwa nga emyaka gigenda gyeyongera.

Okukozesa Nakavundira kwetaaga obugumiikiriza ku ludda lw’omulimi. Mu myaka egisooka, ebirungi ebimuvaamu bibeera tebirabika bulungi. Wabula, okumukozesa entakera kwongera ku bungi bw'amakungula mwaka ku mwaka.

205⸱DEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Mu kuyiwa komposti, obuzito bw'ekyokulabirako bukendera. Kwe kugamba nti ebintu ebiyingizibwa wamu biba bizito okusinga obuzito obw'enkomeredde obw'okulondako. Okufuna tani emu (ebikumi abiri ebya kuintale) eya komposti eteekeddwa okukozesebwa, kozesa:

205⸱1Okwetekateka

205⸱2Enkola

Wegendereze

Kikulu okuteeka enkukutu z'ebintu eby'enjawulo mu musono ogw'okuddiring'anya okusobola okufuna okuvunda okutuufu okw'ebikozesebwa.

Akakodyo

Wakati mu buli mutendera, kikulu nnyo okusaawo olufuufu olulimu Fosifeti (P) ne Potasiyamu(K) oluvudde mu njazi eza mayinja oba Layimu, oba evvu ly'omuliro, oba ekigimusa ekizungu ekya Yureya (Urea) okwogera ekiriisa mu Nakavundira wo n’okukendeeza ku mbeera eya asidi(acidity) kiyambe obuwuka buli obusirikitu okuvunza obulungi Nakavundira.

Akakodyo

Omugundu oba entuumu esobola okunywezebwa nga eteereddwa mu kitanda ky‘emiti oba nga ekozeseddwa Forogo.

205⸱3

Akakodyo

Kebera obubisi nga okozesa engalo: Nyigira ekitundu ky'obusa ku buli mutenderamu ngalo zo.Ekyokulabirako, singa kimenyeka (kufuumuuka), olina okufukirira ekifo ekyo amazzi agawera. Singa buvaamu amatondo matono ne galabika wakati w'engalo zo, obunyogovu buba butuufu. Singa amazzi gakulukuta wakati w'engalo zo, gaba mangi nnyo. Mu mbeera eyo, toyongera kufukirira era leka ekitundu ekyo ku entuumu kikale.

205⸱4

Akakodyo

Omutendera ogusemba ku ngulu gulina kubeera gwa bisigalira bya bimera oba eby‘omuddo okusobola okwewala okuyingirwaamu amazzi g’enkuba, wadde nga Nakavundira yandibadde akolebwa mu kiseera kya kyeeya. Omuddo ogusembye waggulu gusobozesa empewo okuyita mu muggundu okusinga okuggalawo n'obusa obuzitowa ennyo.

205⸱5

205⸱6

Bw’oba okyusa ekirombe:

Akakodyo

Kebera obubisi nga okozesa engalo: Nyigira ekitundu ky'obusa ku buli mutendera mu ngalo zo. Ekyokulabirako, singa kimenyeka (kufuumuuka), olina okufukirira ekifo ekyo amazzi agawera. Singa buvaamu amatondo matono ne galabika wakati w'engalo zo, obunyogovu buba butuufu. Singa amazzi gakulukuta wakati w'engalo zo, gaba mangi nnyo. Mu mbeera eyo, toyongera kufukirira era leka ekitundu ekyo ku entuumu kikale.

Akakodyo

Okukebera ebbugumu nga okozesa omutayiimbwa: Sindika omutayiimbwa ogw'ekyuma ogwa sentimita ana(40cm) mu wakati mu kirombe ogulekemu okumala eddakiika ntono. Bwewesanga nga tosobola kugukwaatako kubanga gwookya nnyo, yongera okukyuusa ekirombe empewo eyitemu. Bwosanga gunnyogoga nga osobola okugukwatako, yongera okutobya oba okufukirira amazzi mu kirombe.

Akakodyo

Singa enkuba etonnya mu kiseera kyonna mu myezi esatu oba ena egy'okukola Nakavundira ono, ekirombe kirina okubikkibwa ne ttundubaali okwewala okufiirwa ekiriisa nga kikulugukka.

205⸱7

205⸱8Enkozesa

Okusinziira ku mbeera eya bulijjo, okwekebejja ettaka kikolebwa okusobola okumanya obungi bwa Nakavundira obwetaagisa okuteekebwako, okusinziira ku byetaago by'ekiriisa ekiri mu ttaka.

Bw'oba ng'otegese okusiimba ekibanja ekipya eky'emmwaanyi:

  • Mu nnimiro empya ey'emwanyi, oweebwa amagezi okukozesa ttani kkumi (10tons) mu hekita (Hectare) emu nga oteeaka mu binnya n'okuddamu okuteeka ttani bbiri (2tons) buli hekita (Hectare) kungulu oluvannyuma lw'okusiimba. Kiba kirungi okuteekako kiro emu (1Kg) okutuuka ku bbiri (2Kg) buli muti gwa mwanyi.
  • Nakavundira bweteekebwa ku nnimiro, yetaaga okubikkibwa amangu aleme kwonoonebwa musana na nkuba, era n’ekirungo ekya Nayitulogeni(Nitrogen) obutafuumuka. N’olwekyo kirungi okukozesa Nakavundira nga ogenda kutandika kukabala oba nga osiimba ebirime.
  • Ebirime ebisimbibwa mu misiri, osobola okumuteeka mu nsalosalo oba ekinnya awamu n'ensigo. Ku birime ebisimbulizibwa osobola okumuteeka mu kinnya awamu n'ensiimbo.

205⸱9

Bw'oba ng'omuteeka mu musiri gw’emwanyi enkulu:

  • Mu musiri gw’emwayi enkulu kozesa wakati wa ttani 7 (tons) okutuuka ku ttani 8 (tons) buli hekita (Hectare) ku ngulu, buli mwaka. Ekiseera nga kiyiseewo, oyinza okukendeeza obungi okutuuka ku ttani 5 (tons) buli hekita (Hectare). Mu bipimo ebitono zibeera gulaamu 250 buli kikolo kya mwanyi.
  • Nakavundira ateekebwa kungulu ku ttaka wakati w'emiti gy’emwanyi. Kino kikolebwa bukyali ku makya oba akawungeezi ennyo nga enjuba egenda okugwa.
  • Asaanye okubikkibwa mangu mu ttaka, omusana n'empewo bireme okumwonoona, era ekirungo kya nayitulogeeni kireme okubulira mu bbanga. Oluvannyuma osobola okugenda mu maaso nga osaako ebigimusa ebizungu nga bulijjo okusinziira ku byava mu kukebera ettaka.

205⸱10

Okumukozesa mu mererezo (nursery) ye mwanyi:

  • Akozesebwa nga ekitanda mu kukola endokwa, mugatte mu ttaka erigenda mu kaveera( polypot) ke mwanyi okutuusa ku kipimo kya 10-30% eky'ettaka.

205⸱11

Bw'oba ng'okozesa ku birime ebirala:

  • Ekyo kituufu, Nakavudiraakozesebwa ne mu birime ebirala ebitali mwanyi.
  • Mu birime ebisimbibwa mu misiri, nga omuceere, obulo, n‘ ebirala, Nakavundira ateekebwa ku misiri awamu n'ensigo oba ensiimbo.

Entereka

Nakavundira alina okukozesebwa amangu ddala nga atuuse.

Singa kino tekisobose, Nakavundira yandibadde aterekebwa n’obwegendereza mu kifo awatatuuka musana na nkuba, oba okubikibwa mu ttaka oba ne ttundubaalioba okutekebwa mu nsawo okusobola okumukuuma nga akyaalimu ekiriisa n’obutagattibwaamu birala.

Bwaterekebwa obulungi, asobola okumala ekiseera nga tayonoonese.

205⸱EEmigaso Mubyenfuna

Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Okuddamu okukozesa ebisigalira

Omuwendo ku bisigalira gweyongera kubanga bye bikozesebwa mu ndagiriro eno ate nga bisangibwa ku faamu oba mu kitundu, ekyokulabirako , obusa obuva mu nte, ebisoolosooli ebiva ku nnimiro. Mu kukozesa ebisigalira bino, kikendeeza ku nsiimbi omulimi z’asaasanya singa aba wa kubitwala awateekebwa ebisasiro eby’olukale.

205⸱FEmigaso gy'obutonde

Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono

Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.

Okuddamu okukozesa ebisigalira

Okuddamu okukozesa ebisigalira by'ebintu mu mwetoloolo gw'enkulaakulana kiyamba okutaasa obutasaasaanya nnyo. Kino kikendeeza ku kwonoona obutonde, okufulumya ery'omukka gwa kaboni, n'okwonoona amazzi.

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

205⸱GOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma

205⸱HEbirowoozo