Akabbeeko ka CaCO3 (kalisiya kabonate) akali kumpi n’ekyomera, n’obuwunga obweru bwasiigiddwa okwetooloola omuzi gwakyo.

#211Okutabula layimu mu ttaka

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

211⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Kirungamya olunnyo lw’ettaka
  • Ky’ongeza endya y’ekirime
  • Kiyamba emirandira okuyita obulungi muttaka okutuukira ddala wansi
  • Kiyamba ebimera okozesa obulungi ekigimusa
  • Ky’ongeza obulamu bw’ettaka obulungi
  • Ky’ongeza amakungula g’emwanyi

Layimu kirungo ekikozesebwa okuteereza obukaawu bw’ettaka n’okutumbula okubeerawo kw’ebirungo by’ettaka mumwanyi. Olunnyo lw’ettaka bw’erubeera wansi ennyo, ebirungo by’ettaka eby’etagibwa ennyo ebirime tebibeeramu bulungi muttaka, ekiremesa emirandira n’ekimera kyonna okukula n’okola obulungi. Mukukyusakyusa olunnyo lw’ettaka, layimu ayambako emirandira okukula obulungi,obuwuka bw’omuttaka okola obulungi emirimu gy’abwo, n’ebimera okukozesa obulungi ebirungo ebiri muttaka.

Okukuuma olunnyo lw’ettaka mumbeera ennungi kitumbula enkozesa y’ekigimusa n’ettaka nga ddongoofu,ekiyambako okukendeeza kubirungo by’ettaka ebifiirwa n’ensasanya ku bikozesebwa etetagisa. Ng’ekiseera kiyise, kino kiyambako mukufuna amakungula agetengeredde agatakyukakyuka, kitumbula obulamu bw’ettaka n’okugumira enkyukakyuka muniima y’emwanyi.

211⸱BOby’okufumintiriza

Okutabula layimu muttaka kirungamizibwa okwekenenya kw’ettaka. Munima z’emwanyi, olunnyo lw’ettaka olulungi lubeera wakati wa 5.5 ne 6.5, n’ettaka ly’okungulu erikeberebwa okuva mubuwanvu bwa sentimita 15 ku 20 limala okukutegeeza oba wetaaga okutabula layimu muttaka era mubipimo ki. Okutabula layimu muttaka nga tomaze kuly’ekenenya kisobola okuviramu ebimera okukula obubi oba ebirungo by’ettaka obutakwatagana (okukyankalana) (oba ebirungo by’ettaka obutabeerawo mu bipimo ebituufu)

Okutabula layimu muttaka kirina kozesebwa mukusiimba oba nga osinzira kumbeera y’enimiro. Okutabula kwettaka kuno kuyinza okukyukakyuka munimiro z’emwanyi zebasimba obusimbi n’enimiro z’emwanyi enkulu, ebikka by’ettaka, obukko bw’ettaka n’engeri enkubba gy’etonyamu. Okutabula layimu muttaka nga tomaze kulowooza kunsonga zino kiyinza okukendeeza enkola ye n’okwongeza ensasanya.

Layimu w’eby’obulimi yekka alina empeke ennungi n’obusobozi bw’okuzza ettaka munteeko Yalina okozesebwa. Omutindo n’obulongoofu bwalayimu by’ebisalawo butya layimu ono bwatereezamu olunnyo lw’ettaka mubwangu era n’ekiyambako n’emukwewala ebibi ebiyinza okuva mukozesa layimu.

Okutabula layimu muttaka y’emu kungeri ennungi oy’okulirabiriramu. Layimu tajjawo bijimusa oba birungo by’ettaka ebilamu naye atumbula enkozesa yabyo nga attekawo embeera ennungi muttaka. Entabula ya layimu muttaka erina okwasaganyizibwa wamu n’enkola z’okuukuuma ebirungo by’ettaka.

Obudde obutuufu

Layimu alina okutabulwa muttaka nga tonasiimba oba tonateeka ekijimusa mu ttakaokumuwa obudde obumala okuteereza olunnyo lw’ettaka. Nga etteeka ekkulu bweligamba, layimu mutabule muttakawakiri emyezi 2 oba 3 nga okozesa enimiro (okulima) tekunatandiika.

Enimiro empya

Tabula layimu muttakanga otandika okutegeka enimiro,emyezi 2 oba 3 nga tonasiimba, naddala nga sizoni (ekiseera) y’enkubba tenatandiikakiyambeko layimu ono okwetabula n’okukola obulungi muttaka.

Enimiro y’mwanyi enkulu

Layimu mutabule muttaka mubudde bweky’eya, kuba mubuno obudde osobola okutuuka mubuli kitundu kya nimiro ate n’okulukuta kwettaka kutono oba tekuliiyo, tabula layimu muttaka nga obulayo emyezi 2 oba 3 oteeke ekijimusa munimiro,okusingira ddala ebijimusa bya nayiturojeni.

Kubanga layimu akola mpola mpola, byakola tebilabikirawo. Okuddamu okutabula layimu mu ttaka ky’etaaga okolebwa buli luvanyuma lwa myaka 2 oba 3 okusinziira kukikka ky’ettaka, enkuba, n’ebikungulwa era kulina kulungamizibwa kwekenenya kwa ttaka.

211⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

211⸱1Okwetekateka

Wegendereze

Totabulanga layimu muttaka mukiseera ky’ekimu ky’oteeramu ebijimusa bya nayitulogeni (nga yuleya oba amoniyamu salifeti). Layimu aleetera nayitulogeni okufuumuka n’ava muttaka,ekikendeeza okukola oba omugaso gw’ekijimusa kino muttaka n’okwonona sente. Yisanga wo ebanga lya sabiti 2 oba 3 okussa ekijimusa muttaka nga omazze okutabulamu layimu.

Akakodyo

Ebipimo bya layimu by’otabula muttaka birina kusinzira ku by’ava mukwekenenya ettaka lyo,nga osinziira ku lunnyo lw’ettaka, ekika, n’endabirira ya lyo. Wewale okutabula layimu muttaka nga tolungamiziddwa bakugu, kuba okutabula layimu omungi muttakakisobola okukyusakyusa n’okutaataganya ebirungo by’ettaka.

Akakodyo

Layimu mutabule muttaka munaku enkalu era enzikakamu (nga tewalinkuba na kibuyaga) osobole okumutabula obulungi muttaka n’okwewala okufirizibwa okuyinza okuletebwa kibuyaga oba amazzi g’enkuba agakulukuta. Wewale okutabula layimu muttaka nga enkubba yakakya.

Akakodyo

Mubitundu ebirimuenkubba enyingi oba ettaka erivamu amangu ebirungo, tabula layimu mutono tono mubipimo eby’enkanankana muttaka okumala ekiseera. kino kiyamba okw’ongeza enkola ye mu ttaka n’okwewala okufirizibwa.

211⸱2Emitendera

Ennimiri empya

Akakodyo

Ettaka bw’eriba nga kalu nyo, libisiwazemu katono nga tonalitabulamu layimu. Kino kiyambako mukukendeeza enfuufu nga otabula layimu n’ettaka n’okuyamba layimu okwetabula n’okwegatta obulungi n’ettaka.

211⸱3

Enimiro z’emwanyi

Wegendereze

Layimu muteeke mubangalya sentimita 10 okuva kumuti gw’emwanyi okwewala okwonona oba okw’okya omuti guno.

Akakodyo

Ettaka bw’eriba nga kalu nyo, libisiwazemu katono nga tonalitabulamu layimu. Kino kiyambako mukukendeeza enfuufu nga otabula layimu mu ttaka era kiyamba layimu okwetabula n’okwegatta obulungi n’ettaka.

211⸱4

Wegendereze

Okuteeka layimu omunji muttaka kiyinza okukendeeza okubeerawo kw’ebirungo eby’etagibwa mu bipimo ebitonotono muttaka okugeza nga ayani, zinki ne manganizi. Gobereranga ebivudde mukwekenenya ettaka era wewale okuteeka teeka (emirundi egy’ediringana) layimu muttaka lyo nga tomazze kukakasa.

Entereka

Layimu mutereke mukifo ekikalu obulungi, ekitalimu bunyogovu era ekitatukamu mazzi. Layimu bwatukibwako amazzi y’ekwata ebitoole oba nayononeka, ekikendeezaamanyi ge. Layimu mutereke mu nsawo oba obudeeya obusibbe obulungi oba mu kikebe era wewale okumuteeka kuttaka oba kuseminti kwenyini.

211⸱DEmigaso Mubyenfuna

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Omutindo gw’emwanyi omulungi

Ekiwandiko kino kiyamba okutumbula omutindo gw’emwanyin’enyingiza y’omulimi neyongera.

Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.

Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

Okukekereza kunsasanya kumala ekiseera ekiwanvu

Ekiwandiiko kino kikola emyaka Minji, ekikifuula ekikozesebwa ekikendeeza kunsasanya y’omulimi bw’okigerageranya kubikozesebwa ebirala eby’ekiseera ekitono by’eyetaaga okukozesa buli kaseera.

211⸱EEmigaso gy'obutonde

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono

Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.

Okugumira embeera y’obudde embi

Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okutereeza (okwenkanyankanya) obulamu bw’ettaka, ekiyamba emiti gy’emwanyi okugumira ekyeeya, ekibugumu n’endwadde ezijilumba obulungi, ekiyambako ebikolebwa okuteereza embeera y’obudde.

211⸱FEbirowoozo