#103Obukuku obukolagana n’ebimera
103⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- kyongera ku ndiisa y’ekirime.
- kyongera ku bungi bw’amazzi ekimera kye gasika mu ttaka
- Kiwa amaanyi emwanyi okugumira endwadde
- Kisobozesa emwanyi okuggumira ekyeeya
- kikendeeza ku kukala kw’emwanyi
- kyongera ku bungi bw’amakungula g’emwanyi
Enkolagana wakati w’obukuku obukolagana n’ebimera bulina ebirungi bingi, naddala mu bizibu ebivaa mu nkyukakyuka y’embeera y’obudde. Obukuku buno butabikibwa mu ttaka eriteekebwa mu biveera ebisimbibwamu endokwa z’emwanyi oba mu misiri emipya. Endokwa ezisimbiddwa mu ttaka eritabuddwamu obukuku obukolagana n’ebirime zimera n’emirandira mingi okusinga ezo ezisimbibwa mwelyo eritaliimu. N’olwensonga eyo, kino kiyamba endokwa okugumira ekyeya nga zisimbiddwa mu nimiro. N’emiti egibeesabeesa enimiro nagyo gifunamu mu nkolagana eno.
Ekika ky’obukuku ekiyitibwa mycorrhizae kikolagana bulungi n’emirandira gy’ebimera. Obukuku buno buwamba obusimu ku lususu lw’emirandira oba munda mu mirandira. Enkolagana eno eretawo emigaso eri obukuku wamu n’emwanyi. Okugeza; Ekimera bekiba kikola emmere yakyo, kifulumya ekirungo kya Sukaali ekyomagaso ennyo munkula y’obukuku. Mu mbeera yemu, obukuku ne buyamba ekimera okufuna amazzi n’ebiriisa ebirala nga phosphorus. Kino kiri bwekityo lwa kuba obukuku bwa mycorrhizae bulina enkizo nene okusika ebirungo n’amazzi okuva mu ttaka. Mycorrhizae era ewa ekimera obukuumi okuva eri obuwuka naddala nga zzibugo ng’obukuku buno butekebwa ku kimera nga kikyali kito.
Trichoderma kye kika ky’obukuku ekisangibwa mu buli kika kya ttaka. Buno buteekawo enkolagana wakati w’omubiri gw’obukuku n’emirandira gy’ekimera. Bulina obusobozi okukuza emirandira, na bw’ekityo bufulumya ebirungo ebikuza amatabi g’emirandira. Okusinziira ku kunonyereza, giziyiza okukula kw’obuwuka obuleeta endwadde ku birime olw’obusobozi bw’okubulya, n’enkolagana embi gye bulina nabwo. Ate mungeriyemu buvuganya n’obuwuka ku biriisa n’awokubeera
Michorrhizae n’eTrichoderma byongeza obusobozi bw’ekimera okugumira okunyigirizibwa kw’obutonde n’obutali. Biteekawo amazzi n’ebiriisa ate ne kyongera n’emirandira okukula, n’okutuuka wansi ennyo eri amazzi amanji. N’olwekyo emwanyi zikula bulungi, ate ne zongera okubala. N’olwe’ensonga eyo ekika ky’obukuku kino kikola ng’ekyokulwanyisa ky’obutonde eri obuwuka.
103⸱BOby’okufumintiriza
Okutabula mu ttaka obukuku obukolagana n’ebimera mu biveera ng’onsimba endokwa mu biveera ng'onsimba endokwa, kyongeza emikisa gyayo okulama mu nnimiro nga zisiimbidwa.
Waliwo obukakafu nti emiti gy’emwanyi egisimbiddwa mu ttaka eriteereddwamu obukuku ly’etaaga ebigimusa bitono kubanga obugimu obusinga buva mu bukuku. Ekirala ekikwatagana n’obukuku kwe kwongera ebbanga emirandira gye gisikiramu ebiriisa ekiyamba ebimera okubikozesa obulungi.
Olw’omugaso gwabwo ogw’okulwanyisa ebiwuka eby’obulabe, obukuku busobola okukendeeza enkozesa y’eddagala ery’obutwa eritta obuwuka.
Ettaka nebweribeera nga si jjimu, Okugeza, ngalirina ebirungo ebitono, ebugumu eringi n’ekirungo kya aluminiyamu, Mycorrhizae eyamba ekimera okukula obulungi. Naye okusinga obukuku bukola bulungi ng’ettaka dungi, era kirungi okubukozesa wamu n’enkola endala eziyambako okugumira embeera y’obudde ng'okubikkka, okukozesa biochar ng’okutwaliza awamu okuddaabiriza ettaka.
Ekiseera ky’okukozesaamu obukuku
Kirungi okutabula oba okunyika emirandira mu bukuku obukolagana n’ebimera ku mutendera gw’okumezesa endokwa, nga tonasimba mwanyi mu nimiro. Kino kiri bwe kityo kubanga omuwendo gwa sente gweyongera ku buli mutendera emwanyi gyeyeeyongera okukula.
103⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
Obuwunga bwa mycorrhizae (nga Vesicular Arbuscular Mycorizae, spore 8 buli gram ey’ekirungo(substrate), obaTrichoderma ( nga Trichoderma harzianum). Era waliwo ebika ebirala bingi ebikirizibwa mu mateeka nga bya mazzi ( nga okozesa lita emu mu yiika 2.5).
Waliwo n’ebika ebigatta mycorrhizae n’e Trichoderma okwongera engeri ebimera gye bikwataganamu n’obukuku. Mycorrhizae akola mpola, ate Trichoderma asaasaana mangu era awamba mangu.
Byonna bino mwebiri mu katale ne bakitunzi ab’enjawulo.
103⸱1Enkozesa ya Mycorrhizae




103⸱2Enkozesa y’a Trichoderma





103⸱DEmigaso Mubyenfuna
Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.
Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.
Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.
Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
103⸱EEmigaso gy'obutonde
Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono
Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.
Obwetaavu bw’edaggala bukendeera
Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.
Obulamu bw’ettaka obulungi
Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.
103⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma
Ebiwandiiko