ekifaananyi ky'ekimera ekikula nga kiva mu kinnya mu ttaka

#208Okusasaanya gypsum ku ttaka

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

208⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Jipusaamu akendeeza olunnyo mu ttaka
  • Jipusaamu atereeza ekikula ky’ettaka
  • Jipusaamu ayambako okuwanvuya emirandira gy’ekimera
  • Jipusaamu ayamba ekimera okugumira ekyeeya
  • Jipusaamu ayongera ku ndiisa y’ettaka
  • Jipusaamu ayongera ku makungula g’emwanyi

Jipusaamu bw’aba nga ateekeddwa ku mwanyi omulundi gumu mu bungi aleetera emirandira gy’emwanyi okukula nga gikka wansi mu ttaka awali amazzi mu biseera by’ekyeya.

Jipusaamu kye kimu ku bintu (kigimusa) ebikozesebwa mu kulima emwanyi nga kirina emigaso mingi, omuli;okwongera ekiriisakya kalisiyamu (Calcium) ne salufa (sulphur) mu ttaka, okukendeeza asidi mu ttaka, okukendeeza obutwa bwa aluminiyamu mu ttaka, okusobozesa amazzi okuyingira obulungi mu ttaka. N’olwekyo, ng’ebika by’ettaka ebimu naddala “oxisols” n’ebika ebyo ebibeeramu olunnyo olungi oba n’eryo eririmu aluminiyamu omungi, bw’okozesa jipusaamu kizuuliddwa kyongerako ku makungulu g’emwanyi n’ebirime ebirara.

Ne wankubaddeng’okukozesa layimu nakyo kiyambako okukendeeza asidi mu ttaka, jipusaamu asingako okumerenguka obulungimu mazzi okusingako lime era asobola okukka wansi mu ttaka.Bw’amala okumerenguka obulungi, atambula mu ttaka n’akwata ettaka awamu. Kino kiyambako empewo, amazzi n'ebiriisa okuyingira ewala mu ttaka. Jipusaamu akakasiddwa okuziyiza obutwa bwa aluminiyamu era n'okwongera obungi bw’ekiriisa kya kalisiyamumu ttaka, nga byombi bino biyambako okwongera obungi bw’amakungula g’emwanyi.

Emigaso egyo ejiva mu Jipusaamu giyambako emirandira gy’emwanyi okukula nga gikka wansi mu ttaka ewali amazzi naddala mu biseera eby’ekyeya ekiyambako emwanyi okugumira ekyeya.

208⸱BOby’okufumintiriza

Obungi bw’ekirungo Gypsum eri ebirime ebikulira mu bbanga erisuka mu mwaka , ng’emmwanyi, tusobola okububala nga tukozesa engeri y’ekibalo eya Souza (1995):

Obungi bwa Gypsum obwetagibwa mu kilo buli ekiteya emu(kg/ha)= 75 x (% clay)

Kikulu nyo okumanya nti obungi bw’olubumbabumba bujakuba bwanjawulo mu ttaka ery’enjawulo, era bujakumanyibwanga nga tusinzira ku biva mukwekebejja ettaka okw’ekikugu.

Mu nkola endala, ekirungo Gypsum tusobola okukiteeka mu ttaka mu bungi bwa bitundu 25% obw’obungi bwa lime eyand’etagisiza.

Okuteeka Jipusaamu omungi mu ttaka kiyinza okwongera obungi bwa kalisiyamu mu ttaka era kino kiyinza okuleetawo obutenkanankana bw’ebiriisa ebirara nga maginiziyamu. N’olwekyo kiba kirungi okwongeramu ku biriisa ebirala. Okukebera ettaka kiyambako okumanya ebirungo ebingi n’ebibula mu ttaka. Okwetegereza ebikoola by’emwanyi buli mwaka kiyinza okulagibwa okusobola okwekeneenya endiisa y’ekirime ky’emwanyi.
Olw’ensonga ezo wagulu, kyandibadde kirungi n’otandika n’emiti gy’mwanyi mitono nga bwe weetegereza ebivuddemu, oluvannyuma n’olyoka ogaziya okusinziira ku busobozi singa Jipusaamu abeera akoze bulunji ku mwanyi.
Mu myaka ng’enkuba ennungi, kiyinza okulabika nti tewali njawulo wakati w'ennimiro ezirimu Jipusaamu n'ezitaliimu. Enjawulo ey’amaanyi eyinza kulabika mu biseera eby’ekyeya. Si kirungi okuteeka jipusaamu ku ttaka ery'olusenyu era ng’enkuba esuubirwa okutonnya enyingi.

Ekiseera eky’okukozesaamu Jipusaamu mu ttaka:

Jipusamu nga munji yandibadde ateekebwako omulundi gumu. Yandibadde ateekebwako mu biseera eby’okutegeka enimiro okutuuka mu mwaka ogwokusatu ng’emirandira gikula.

Osobola okwongerako Jipusaamu ku mutendera gwonna ekimera kwe kiri naye kiba kirungi mu biseera by’omusana ng’enkuba etandika, kisobole okutandika okukola amangu.

208⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Ku 0.1 mukama

208⸱1Okusaba

Bw'oba ng'osimba ennimiro mpya ey’emwanyi:

Akakodyo

Osobola okugatta Jipusaamu wamu n’ebijimusa ebirala.

208⸱2

Bw'oba ng’oteeka Jipusaamu ku mwaanyi enkulu:

Akakodyo

Kiragibwa okwekenneenya ettaka mu buwanvu bwa sentimita 0-20 buli mwaka, emyezi 6 ejisooka nga omaze okusimba okukka wansi sentimita 0-2, emyeezi 6 egisooka ng’omaze okusimba, kebera okutebenkera kw’ebiriisa mu ttaka kikusobozese n’okuterezaamu aweetaagisa okwewala obutali butebenkevu bwa kiriisa eri ekimera.

Buli luvannyuma lw’emyaka ebiri, kebera ettaka mu buwanvu bwa sentimita 20-40.

208⸱DEmigaso Mubyenfuna

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

208⸱EEmigaso gy'obutonde

Obulamu bw’ettaka obulungi

Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.

208⸱FEbirowoozo