Okukwata amazzi agava mu ttaka

#301Okung’anya amazzi g’enkuba (ebidiba ebizimbe ne seminti)

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Arabica, Robusta

301⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Okukekkereza amazzi
  • okufuna amazzi g’okufukirira
  • Okwongera ku makungula g’emwanyi
  • Okukendeeza kukukala kw’emwanyi

Okung’anya amazzi g’enkuba y’enkola y’okukwata n’okutereka amazziagakulukuta ku ttaka ne ku busolya bw'enyumba mu bude obw’enkuba. Amazzi gano gakozesebwa mu nimiro y’emwanyi okufukirira, okunywesa ebisolo, n’okukozesebwa awaka.

Okung’anya amazzi kya mugaso nnyo mu bitundu ebifuna enkuba entono. Kisobola n’okuyambakookusobozesa okulimamu bitundu enkuba gy’etonya nga tegabanyiziddwa bulungi mu mwaka singa wabaawo ettaka ejjimu n’ebirime.

Ne mu bitundu emwanyi gye zikulaobulungi, ebizibu ebiretebwa enkyukakyuka mu mbera y’obudde nga:- enkyukakyuka ya sizoni y’enkuba, ekyeya, omuyaga n’omuzira bireetera abalimiokufiirwa olw’amakungula amatono. Enkyukakyuka mu ntonnya y’enkuba ereetedde obulamu bw’abalimi okubeera nga tebweyagaza.

Okung’anya amazzi g’enkubakisobozesa omulimi okufuna amazzi agamala okwongereza ku nkuba ekireetera okwongera ku makungula g’emwanyi.

Okung’anya amazzi kikendeereza abakyala, n’abaana ab’obuwala omugugu gw’okima amazzi okuva ku nzizi nga batambula engendo empanvu, kubanga kireeta amazzi awo wenyini wegeetaagisibwa.

301⸱BOby’okufumintiriza

Waliwo engeri nyingiez'enjawulo ez'okukung’anya amazzi. Mu kiwandiiko kino esira liteekedwa kunkozesa y’ekinnya ekyetooloovu kubanga kyabuwangazi, kikung’anya amazzi mangi, kyangu kya kulabirira ate bwe kiba kifunye awatonnya, wangu wa kulaba n’okudabiriza.

Ebinya bino bisobola okusimibwa mubigero eby’enjawulo, okusinziira ku bwetaavu bw’amazzi n’obungi bwa sente ezeetaagisa okubizimba. Obwetaavu bw’amazzi bulina okubalirirwa okusobola okuteekateeka ekigero ky’ekinnya.

Ebizibu ebitera okweyoreka ng’ekidiba kizimbibwa mulimu okubala obubi ebikozesebwa, n’enkuba okutonnya. Kino kikeereya omulimu gw’okuzimba. Bino byonna birina okulowoozebwako mu nteekateeka y’abakozi ne sente.

Amazzi agakung’anyiziddwa gaba ga matono, n’olwekyo galina okekkerezebwa mu nkozesa. Mu nkola eno, okukozesa amazzi g’enkuba agakung’aniziddwa kya njawulo ku kufukirira okwa bulijo nga okujja amazzi kunsulo kubanga go gaba gamala era nga wegali buli kiseera.

Ekidiba ekikung’anya amazzi kya bulabe eri abaana n’ebisolo singa tekibikibwako. N’olwekyo kirungi okuzimbibwako ekikomera okukyetolola.

Mu biseera by’ebbugumu eringi n’ekyeya, amazzi okuva mu kidiba gafumuka nnyo. N’ekirala, ekidiba kiyinza okufuuka ezzaaliro ly’ensiri. N’olwekyo, kyandibadde kirungi okuzimbako akasolya oba okuteekako ekimera kya kitengejja. Kitengejja atengejja ku mazzi wagulu, anywa obutwa obuli mu mazzi era agyamu n’obukyafu bwonna amazzi ne gatukula.

Ekiseera ky’okusimamu ekidiba: Ekidiba kyandisimiddwa, okukuba pulasita, okuzimba ekisenge, n’amazzi we gayingirira mu biseera by’omusana nga enkuba egenda kutandika okutonnya.

301⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Ekidiba/tanka ekunkungula amazzi esobola okutereka obungi bw’amazzi obuwera liita mutwalo gumu n’ekitundu (15,000) buli nkuba lw’etonnya. Gano amazzi gamala okufukirira ekitundu kya yiika emu mu biseera eby’ekyeya okumala emyezi esatu.

301⸱1Okwetekateka

301⸱2Emitendera

Okusima ekinnya:

Akakodyo

Singa mu kitundu mulimu enkuyege nyingi, ekinnya kino kirina okuteekebwamu eddagala erizigoba. Eddagala lino liteekebwa ku bisenge nga tebinnakubwako pulasita.

301⸱3

Okukuba pulasita ku bisenge byomunda:

301⸱4

Okuzimba ekikomera waggulu w’ekidiba:

Wegendereze

Kikulu nnyo okutunuza omuwatwa amazzi we ganayimgirira mukoka gyava.

301⸱5

Okuzimba omukutu oguyingiza amazzi mu kidiba:

301⸱6

Okuteekako akasengejja ettosi ku mulyango:

Ebisaaniiko n’ettosi, omusenyu, amayinja bibeeramu mukoka akulukuta, bwe biyingira mu kidiba, bikendeeza obunji bw’amazzi agaterekebwa.

301⸱7

301⸱8

301⸱9Okusaba

Akakodyo

Amazzi agakunguddwa gayinza okuteekebwa mu ccupa y'amazzi negakozesebwa ng'okufukirira nga tukozesa obukyupa.

301⸱10

Okusigala nga bikyakola obulungi n'okutuukiriza obulamu obuwanvu, okulabirira ekizimbe ky'okusondera amazzi n'okukikuuma kikulu. Emirimu egigenda okukolebwa buli kaseera kuliko:

Akakodyo

Kisaana okusimba kitengejja ku mazzi agakung’anyiziddwa mu kinnya okuva mu kiddiba olwemigaso gyalina nga okunuuna obutwa mu mazzi, okugalongoosa n’okuziyiza ensiri okuzalirako.

301⸱DEmigaso Mubyenfuna

Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.

Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.

Amakungula g’emwanyi g’eyongera

Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi

Kikekereza ku nsasaanya ku mazzi

N'ekyuma kino, amazzi matono ge gakenewe okugulwa, nga kino kikendeeza ensasula.

Okukekereza obudde

Ekyuma kino kiyamba okufuna obudde n'amaanyi mu bulamu bwa bulijjo.

301⸱EEmigaso gy'obutonde

Okukekkereza amazzi

Enkola eno ekekkereza amazzi bwe gabanga tegalabikalabika.

Kyongereko kuberawo kw’amazzi agafukirira

Ekyuma kino kiyamba okufunira amazzi ag'okufukirira si ku bimera bya kkaawa byokka wabula n'okusimba endokwa, ebirime, emiti egirala egikula nabyo n'ebirala ebika by'ebimera.

Etebekenza embeera y’obudde entonotono mu kitundu

Ekyuma kino kiyamba okugolola obutonde bw'obudde obw'omu kitundu. Kino kiyamba okukendeeza ku bungi bw'ebizibu ebiva mu kusinziira ku by'obudde.

Obungi bw’ebitonde eby’enjawulo

Ekyuma kino kiyamba okukola ebifo eby’enjawulo ebisobola okukuliramu ebimera n’ebisolo. Kino kiyamba mu kukuuma obutonde bw’ensi obulamu.

301⸱GEbirowoozo