#101Emiti egibeesabeesa ennimiro y'emwanyi egy'emikwano
101⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Okukuuma emiti gy’emwanyi obutayokebwa musana mungi n’ebbugumu.
- Okukuuma emiti gy’emwanyi obutakosebwa kibuyaga n’empewo ey’amaanyi.
- Kikuuma emiti gy’emwanyi obutakosebwa nkuba nyingi.
- Okukuuma emwanyi obutakosebwa muzira.
- Gyongera obujimu mu ttaka.
- Gyongerako omutindo ku mwanyi.
- Kiyambako okutebenkeza kwobunyogovu bw’ettaka n’ebbugumu.
- Kikendeeza ku kuluguka kw’ettaka.
Okusimba emiti n’obusaka mu ennimiro n’okugilirana, kirimu ebirungi bingi eri obulimi bw’emwanyi naddala mu mbeera eno ey’enkyukakyuka mu budde. Enkyukakyuka y’obudde eyinza okuggya n’ekyeya awamu n’ebbugumu eringi, embuyaga, enkuba entono oba enyingi. Bino byonna bisobola okukosa emiti gy’emwanyi, okukuluguka kw’ettaka, n’okukendeeza omutindo n’obungi bw’emwanyi.
Emiti n’ebisaka gigasa mu ngeri zino:
- Ebisiikirize
- Okukendeeza omusinde gw’embuyaga
- Emmere, ebikozesebwa oba ensibuko y’enyingiza
Emiti gy'ebisiikirize
Emiti gy’ebisiikirize gikugira omusana, enkuba eyamanyi n’embuyaga okutuuka obuterevu ku miti gy’emwanyi. Emiti gino osobola okugisimba ekintabuli oba mu nyiriri mu nnimiro y’emwanyi. Ekisiikirize ky’emiti kikugira emwanyi okwengera amangu nekigiyamba okukula obulungi n’okubeera ey’omutindo ogwa waggulu. Ekisiikirize ekingi tekiganya muddo kummera mu bungi, era n’okukendeeza ku kwalula kw’ebiwuka ebiyoigganya emwanyi.
Emiti egikendeeza omusinde gw'empewo
Omuyaga awmu n’empewo ey’amanyi eya buli kiseera esobola okumenyamenya n’okwonoona emiti wamu n’amatabi g’emwanyi naddala nga ziriko empeke. Omuyaga gwongera okufuumuka kw’amazzi, na bwekityo, ne kyetaagisa okufukirira. Era omuyaga guyinza okuleeta obudde obunyogovu ne kileeta suulwe ku bikoola ne kiyambako okwatibwa kwa kawukaakayitibwa “phoma ssp”.Emiti n’ebisaka naddala nga gisimbiddwa ku nsalosalo z’ennimiro y’emwanyi gikendeeza ku musinde gw’empewo oba kibuyaga n’ekikuuma emiti obutayonooneka awamu n’okukuuma ebbugumu erimala mu ttaka.
Emmere, ebizimbisibwa awamu n'enyingiza
Ebika by’emiti ebyenjawulo ebisimbimbibwa mu nnimiro z’emwanyi, birina emigaso ntoko nga okuvaako ebibala eby’okulya, amakoola okuliisa ebisolo, eddagala, nempagi ezikozesebwa mu kuzimba ku faamu n’okuggyamu ensimbi. Ebisigalira n’ebikoola bisobola okukozesebwa nga Ebibikka, Nakavundira n ‘enku ezifumba.
Okutwaliza awamu, emiti n’obusaka giziyiza okkulugguka kw’ettaka ne kyongeza obujimu mu ttaka nga biva mu birungo ebiva mu bikoola ebiba bivudde ku miti. Ebika ebiwerako eby’emiti bireeta ebiwuka eby’enjawulo ebikwasa ekimuli ne kiyambako okwongeza amakungula g’emwanyi.
Okuteeka mu nkola y’okulima ebirime ebikulira wansi, obusaka, omuddo, goberera endagiriro ekwata ku nkozesa yebibikka by’omuddo (Cover crops).
ENNIMA Y’EKINTABULI (AGROFORESTRY)
Okulima ng’otabikiriza emiti, obusaka, ebirime awamu n’emmere mu nnimiro y’emwanyi gwe gumu ku mitendera egitondawo enkola ey’okulima emiti n’ebirime. “Agro forestry” y’enkola ey’okkozesa ettaka nga tugattika okulima ebirime n’ebika by’emiti egy’enjawulo egirina obuwanvu obwenjawulo,enkula n’obutonde. N’olwekyo kino kyefaanaanyirizaako ensengeka y’ekibira eky’obutonde, kitondawo ebitonde eby’enjawulo n’ensengeka y’obutonde obuwangaala obulina emigaso egy’enjawulo ku butonde nentekateeka y’okulima.
101⸱BOby’okufumintiriza
Emuti egimbibwa nga gyabuwangaazi oba obusaka birondebwa okusinziira ku bino;
- Emiti tegirina kuvuganya kubiriisa, amazzi, ekitangaala n’emiti gy’emwanyi oba okukweka n’okusenza ebiwuka nendwadde ebikosa emwanyi.
- Obuwanvu bwagyo, ekikula n’obutonde girina okuba nga gitukagana n’ekigendererwa (Ekisiikirize, okwata empewo)
- Bw’egiba nga giyiwa amakoola, kyandibadde kikulu okulonda ekika ky’omuti ekisuula amakoola mu kiseera emiti gy’emwanyi wegyetaagira ekitangaala ekiwelako.
- Ebika by’emiti ebirina emigaso egy’enjawulo eky’okulabirako, legumes (egirina emirandira egyongera obujimu mu ttaka, egisikiriza enjuki, wamu nebikkoola ebivunda n’ebikola nakavundira). Emiti gy’ebibala (gya mmere n’ensimbi) Emiti gy’embaawo (Enku n’ensimbi.) okusingira ddala singa bino bibeera bikungulwa mu kiseera eky’enjawulo n’amakungula g’emwanyi mu mwaka.
- Lowooza ku mirundi emeka gy’osalira, n’ekika ky’omuti kye weetaaga okulabirira n’obungi bw’abakozi abaliwo.
Kikulu nnyo nti omuwendo n’amabanga g’emiti gatuukiriza ekigendererwa. Singa emiti gifutikibwa nnyo,kileeta obuzibu naddala mu bitundu ebirina empewo, kw’etambulira ku misinde emitono oba ebirina omusana omutono; ekisikirize ekingi kisobola okureta obunyogovu obw’amaanyi ekiviiramu okukula kw’endwadde eza fango “fungal”. Okusiikirizibwa okungi era okukosa okubala kw’emwanyi n’okwongezakundwadde ezimu.
Okulima emiti okutuuka wegikula okusobola okutuukiriza ekigendererwa, kitwala emyaaka egiwerako. Ebisaka ebikula amangu biyinza okuyambako ekiseera paka emiti wegituuka ku buwanvu n’amanyi agamala.
Okukwata omuka gwa kaboni nga oyita okugata emiti mu nnimiro y’emwanyi, kiwa omukisa abalimi okwongeza kunyingiza yensiimbi nga bayita mu nnima eyitibwa “carbon farming”.
Ekiseera ekyokusimbiramu: Ebisaka n’emiti byandibadde bisimbibwa ku ntandikwa ya sizoni y’enkuba. Bisobola okugattibwa mu nnimiro y’emwanyi ku mutendera gwonna, wabula singa ennimiro y’emwanyi etandikibwawo oba eddizibwa obujja, kisoboka okukiteekateeka, kisaanidde okusimba emiti omwaka gumu emabega nga tonasimba mwanyi
101⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
Emiti n'ebisaka ebikozesebwa mu nnimiro za kawa mubeezi:
Emiti gy'ebibala:
- Tewali
- Mugavu
Ebisaka (Legume shrubs):
- Leucaena (River tamarind)
- Tephrosia
Emiti egy’ebibala:
- Matooke
- Wovakeddo
- Macadamia
Emiti egy’embaawo:
- Muvule
- Grevillea robusta (Mutuba gwa Southern silky oak)
- Mahogani – (Caoba)
Kisaanidde okwogera n’omulimisa, mulimi munno oba abalimi abakuukuutivu ku bumanyirivu bwabwe ku miti egy’enjawulo emizaaliranwa.
Kakasa nti tewali biwuka oba ndwadde zireeteddwa wamu n’emiti. N’olwekyo ensigo ezijanjabiddwa ze zisinga oba endokwa ezikuziddwa mu meresezo ey’obuvunaanyizibwa. Kale na bwekityo, ettaka eritambuza endwadde terireetebwa mu butanwa.
101⸱1Emitendera








101⸱DEmigaso Mubyenfuna
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
Omutindo gw’emwanyi omulungi
Ekiwandiko kino kiyamba okutumbula omutindo gw’emwanyin’enyingiza y’omulimi neyongera.
Okukendeeza ku bwetaavu bw’okufukirira
Enkola eno ekendeeza ku bwetaavu bw’okufukirira n'olwekyo n‘ensaasanya ku bintu ebikozesebwa.
Ensasanya kukuddaabiriza enimiro ekendeera.
Ekiwandiiko kino kiyamba mukw’ongeza obuwangazi bw’emiti gy’emwanyi. Okuddaabiriza emiti gy’emwanyi kuba tekwetaagisa kolebwa buli kiseera ekikendeeza ku nsasanya omulimi zakola mukulima emwanyi okumala ekiseera ekiwanvu ddala.
Kyongerako ensibuko y’ensimbi
Enkola eno erina obusobozi okwongera ku makubo agayingiza sente.
101⸱EEmigaso gy'obutonde
Obulamu bw’ettaka obulungi
Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.
Obungi bw’ebitonde eby’enjawulo
Ekyuma kino kiyamba okukola ebifo eby’enjawulo ebisobola okukuliramu ebimera n’ebisolo. Kino kiyamba mu kukuuma obutonde bw’ensi obulamu.
Okukwata n’okutereka omukka omubi
Ekyuma kino kiggya CO₂ mu bbanga ne kikisunga. Kino kiyamba okukendeeza ku bungi bwa CO₂ mu bbanga.