#203Okubikka
203⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Kukuumira amazzi, obunnyogovu n‘ebbugumu mu ttaka
- Kukendeeza okukulugukka kw'ettaka
- Kukugira okukula kw’omuddo.
- Kwongera obulungi bw'ettaka n'ebintu ebiramu ebiririmu
- Kwongera obulamu bw'ettaka
- Kwongera ekiriisa ky’ebimera mu ttaka.
Okubikka kwekukozesa ebisigalira by'ebimera ebikaze oba ebivundu okubikka ettaka wakati mu mabanga g‘ebirime n'emiti. Ebisigalira by'ebimera eby'enjawulo bisobola okukozesebwa, byebino; omuddo ogukaze, ebikongoliro, ebisusunku, ebikuta n'ebintu ebirala eby'obutonde ebisobola okuvunda nebikola nakavundira.
Ettaka bwelibeera eryereere kibeera kyangu nnyo okukulugusibwa amazzi n’empewo kubanga omusana ogulyaakako obutereevu negulikaza nnyo. Kino kyeyongedde nnyo ensanjji zino olw’enkyuukakyuka mu mbeera y’obudde.
Okubikka kutangira ebizibu ebiva ku nkyuukakyuka mu mbeera y'obudde.
Kuyamba ettaka obutatuukibwaako musana butereevu n’okuziyiza okukubibwako obutereevu amatondo g’enkuba amanene ekiyamba okukendeeza ku kukulugguka era n’okulikuumiramu obunnyogovu. Kulwanyisa omuddo era ebibikisibwa bwebivunda, byongera ekiriisa mu ttaka. Mu kiseera kye kimu, kuyamba okwongera okutereeza endiisa y’ebimera n’emiti nga kutereeza ekikula kye ttaka okutwaliza awamu.
Okuganyulwa okulala okutali kwa butereevu okuva mu kubikka ettaka kwe kuba nti kukendeeza ku maanyi n'obukambwe bw'ebiwuka n'endwadde ezitali zimu ebirumba emwanyi mu ngeri bbiri. Esooka, kukuumira amazzi mu ttaka emwanyi n’etakosebwa, n‘ebeera y‘amaanyi era n’esobola okwerwanako. Eky’okubiri kiri nti olwokuba kutereeza embeera y’obutonde bwettaka, kikendeeza ku buwuka obuleeta endwadde obuzaalibwa mu ttaka.
203⸱BLaba akatambi
203⸱COby’okufumintiriza
Ebibikisibwa ebimu biyinza okuleeta ebiwuka n'ensigo z'omuddo mu nimiro y’emwanyi. Ebikuta by’emwanyi byewale kubanga bisobola okukuleetera ebizibu ebyo byombi. Bwooba osazeewo okukozesa ebikuta byemwanyi okuzza ettaka obuggya, birina kusooka okuvunda nga tuyita ngeri y’okukola nakavundira oba Bokashi. Mu ngeri eyo, obulwadde obuyinza okubivaamu bujja kuziyizibwa.
Okuziyiza okusaasaana kw’omuddo oguyinza okuva mu kubikka, ebibikkisibw birina kusaayibwa n’okwanikibwa nga tebinaba kuleeta nsigo.
Okusinziira ku mbeera y'obudde eriwo, ebibikkisibwa biyinza okubera n’omukisa munene okuvaako omuliro mu kiseera ky'ekyeeya. Wewale nnyo okwokya ebisubi, nga osambula. Era, weewale okusuula ebintu ebikuma omuliro nga sigala n’obubiriiti mu nnimiro ebikiddwa.
Enkola endala ey'okubikka ettaka eri wano ye y‘okukozesa Ebimera ebisimbibwa okubikka ettaka (Ebimera ebiramu ebikozesebwa okubikka). Ebimera ebisimbibwa okubikka ettaka birina emigaso mingi, nga okukuuma ettaka n'emiti gy‘emwanyi nga bwe kiri ku bibikkisibwa ebikalu, naye nga byetaage amabanga okuzaala okusobola okubikka amabanga gonna agali mu nnimiro y’emwanyi. Okwongerako, ebika ebimu eby'ebimera ebisimbibwa okubikka ettaka bisobola okwongera ekiriisa kya Nayitulogeni(nitrogen) mu ttaka, nga kino kigasa butereevu emwanyi.
Wabula, singa wabaawo ebibikkisibwa, bino bye birina okukolebwa okusobozesa emwanyi okuvuunuka okusoomozebwa okuva ku nkyuukakyuka y’embeera y’obudde.
Ebbanga: Ebibikkisibwa bisobola okuleetebwa mu kiseera kyonna mu mwaka. Wabula, ekiseera ekisinga obulungi kye kyenkuba nga etonnye ebire nga 2 (bibiri) oba 3 (bisatu) bisobole okukwaata ettaka obutakulugguka n’okukuumiramu amazzi agawera.
203⸱DEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
Ebisigalira by'ebimera nga ebyokul example ziyinza kuba bisusunku, ebikongoliro, amalagala, oba omuddo ogwokye nga:
- Kaamulali
- Ebibono
- Soya
- Gonja
- Pennisetum americanum (Bulo)
- Raphanus sativus L. (Ebitooke by'okulya ebisolo)
- Lupinus albus (Lupine)
- Cenchrus purpureus/ Pennisetum purpureum (Omusubi gwa njovu/Napier)
- Urochloa ruziziensis (Brachiaria)
- Panicum maximum (omuddo gwa Guinea)
- Mucuna pruriens (Kawumpuli)
- Crotalaria sp. (Crotalaria)
- Njagala (Gandule, Kabalagala, Njagala ya Pijini)
- Ebibira bya Tephrosia (bwe bikozesebwa nga bikyali bito / birimu ennyama)
- N'ebirala.
203⸱1Emitendera
203⸱2



Kakasa nti ebibikkisibwa tebituuse ku kikolo kya mwanyi kikusobozese okwewala ebiwuka n‘endwadde. Bw‘okola bwoti kiyamba okuziyiza okuvunda kw'ekikuta ky'omuti ( Collar rot) era n‘okugoba obuwuka n'ebirwadde ebirala ebiyinza okukozesa omukisa ogwo okulumba omuti.
203⸱3
- Ebibikkisibwa ebikalu birina okulabirirwa era n’okwongerwaamu buli sizoni.
203⸱EEmigaso Mubyenfuna
Kikendeeza ensasaanya ku bakozi
Enkola eno eyinza kwetagisa abakozi nebikozesebwa ebiwerako mu ntandikawa. Wabula, emigaso gyayo mudda ekenddeza obwetavu mu bakozi ekiretawo okukekereza.
Okukendeeza ku bwetaavu bw’okufukirira
Enkola eno ekendeeza ku bwetaavu bw’okufukirira n'olwekyo n‘ensaasanya ku bintu ebikozesebwa.
Okukendeza ensaasanya ku ddagala erifuuyirwa
Enkola eno ekendeeza ku bwetaavu bweddagala erifuuyirwa n'olwekyo kikendeeza ensaasanya ku bikozesebwa okutwaliza awamu.
203⸱FEmigaso gy'obutonde
Tewali bwetaavu bwa kufukirira nnyo
Enkola eno eyamba okukekkereza amazzi agakozesebwa mu kulima. Kino kikuuma amazzi kubanga ga muwendo nnyo.
Tewetaaga ddagala lya kufuuyira lingi
Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’eddagala erifuuyirwa. Kino kikendeeza okwonoona amazzi, kikuuma obutonde bw'ensi, kyongera obulamu bw'ettaka, era n’okukuuma eby'obugagga.
