ekifaananyi ky'ekikokola

Ne mu nsi zino amawulire gano gyeegali: Gwatemala, Honduras, Indonezya, Tanzania, Uganda, Yethiyopiya

Likakasidwa eri:
Robusta, Arabica

105⸱AEndowooza y’ekiwandiiko

  • Okukuuma emiti gy’emwanyi obutaliibwa kawuka.
  • Okwongeza ku makungula g’emwanyi.

Omutego gw’akacupa gukola nnyo mu kulwanyisa akawuka akawummula obutabi bw’emwanyi. Eccupa ekozesebwa ebeera etangaala ngesibiddwako akawuzi oba akawaya okusobola okulengejja. Eteekebwamu amazzi agalimu sabbuuni wansi, n’akaccupa kacupa akatono ak’eddwaliro nga kalimu walagi omuka (Ethanol) waggulu. Akawoowo ka waragi kasikirizza obuwuka buno okuyingira munda mu ccupa. Bwe bugwa ku kaccupa waggulu, buwunga ne buggwa mu mazzi agalimu olussabuuni mu ccupa enenne era ne bubbira. Enkola eno yavumbulibwa era nekakasibwa ekitongole ekinonyereza ku bye ku by’emwanyi mu Uganda kimanyiddwa nga NACCORI, era guno gumanyiddwa nga NARO-Uganda beetle Trap technology (Brocatap).

Akawuka akakuba obutuli mu mpeke/miramwa gy’emwanyi coffee berry borer (CBB) oba akamanyiddwa nga (Hypothenemus hampei) mu Lusipaana, kikakasiddwa nga akakyasinze okuba ak’omutawana ennyo n’okusaasaana mu kirime ky’emwanyi. Okweyongera kw’ebbugumu kunsi, akawuka kano katandise okukosa nnyo empeke z’emwanyi naddala mu bitundu ebiri mu nsozi omulimwa emwanyi (above 1200 m) Wabula tekakoma eyo, kivumbudwa nti akawuka kano kakosa buli kitundu omulimwa emwanyi. Akawuka kano kaleetera okukendeera kw’omutindo gw’emwanyi n’amakungula okuva ku bitundu 30-35 ku buli 100 ekiviiramu okufiirizibwa ensimbi.

Akawuka akakazi kakuba akatuli ne kakka mu empeke/ miramwa gy’emwanyi ne kabiikamu amagi agali wakati we 70. Kino kibeerawo mu kiseera kya weeks 8 nga zimaze okumulisa ekimuli paka mu makungula, obuwuka obwaluddwa, bulya ku miwula era ne kigireetera okugwa n’okuvunda. Emilamwa egikoseddwa giba givunda negikala.

105⸱BOby’okufumintiriza

Okulwanyisa akawuka kano kyetaaga ne kikolebwa wamu ng’ekyalo kubanga obuwuka buno busobola okubuuka ebbanga eggwanvu era tekiba kya mugaso nga omulimi omu akozesezza emitego ate ng’abalala tebagikozesezza.

Ng’ogyeko enkozesa y’omutego gw’akaccupa, eriyo engeri endala nyingi ezikakasiddwa ezisobola okulwanyisa akawuka kano nga zino:

  • Okwongera ku ndiisa y'ettaka , kyazuulibwa nti akawuka kaba kangi nnyo mu mwanyi eziba n’ekirungo kya fosifolasi (phosphorus) mu bipimo ebitono. Wano nakavundira asobolera ddala okuyambako.
  • Okwekenneenya olutatadde emiti gy’emwanyi n’okuzuula empeke ezikwatibwa akawuka kano.
  • Okukuuma obuyonjo nga okulonda n’okunojjolamu emwanyi ezikwatibwa, okulongoosa wansi w’emiti n’oggyawo eziyiise era zino zookebwe oba okuziikibwa mu ttaka okutta akawuka ka CBB.
  • Okukunganya ebibala ebisigadde ku kimera oluvannyuma lw’okukungula.
  • Wewale okusakaatira kw’emiti gy’emwanyi ng’ogisalira n’okuwawagula.
  • Simba emiti egikakasiddwa ebitongole ebinoonyereza ensimba y’emwanyi (laba Ebyuma by'emituba mikwano). Ennimiro yemwanyi erimu emiti gyebisiikirize esikiriza nnyo ebinyonyi okujja okulya obuwuka buno. Naye weewale ekisikirize ekinji ekiyinza okuleeta embeera ennuingi okukweka obuwuka buno.

Ekiseera ky’okutega emitego: Emitego gya kiseera kyonna, giteekebwayo ku ntandikwa ya sizoni y’enkuba era giyongyebwa ne gijuzibwa buli luvannyuma lwa wiiki bbiri (2). Bwe giba nga gikaddiye gisobola okukyusibwa.

105⸱CEkutekesa mu nkola

Okuteeka mu nkola

Ku yiika 2 ½ (1 hectare):

105⸱1Enkola

105⸱2

105⸱3

Akakodyo

Tekyetaagisa kusiba kacupa ku buli muti gw’emwanyi. Ekisinga obulungi waakiri gwandibadde omutego gumu mu buli miti 30. Naye bwe wabaawo emitego emingi kiba kisingako. Longoosa era oddemu ojjuze eccupa buli luvannyuma lwa wiki bbiri (2).

105⸱4

105⸱DEmigaso Mubyenfuna

Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka

Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.

Okufirizibwa kukendeera

Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.

105⸱EEmigaso gy'obutonde

Obwetaavu bw’edaggala bukendeera

Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.

105⸱GEbirowoozo