#201Ebinnya Ebikungula Amazzi g’Enkuba mu Nimiro
201⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Okukendeeza okukuluguka kw’ettaka
- Kiyambako amazzi okuyingira mu ttaka
- Kiyambako okwongera ebiriisa mu ttaka
- Kiyambako okwongera obungi bw’amakungula
- Kikendeeza kukukala kw’emwaanyi
- Kyongera ku bulamu bw’ettaka
Ebinnya ebikwata amazzi g’enkuba biba bitonotono nga bisimibwa wakati mu nyiriri z’emwaanyi. Biyambako okukendeeza ettaka eryokungulu okukuluguka okuva mu nimiro n’okutereka amazzi. Amazzi gaterekebwa mu binya bino okumala eddakiika, essaawa oba oluusi n’enaku. Kino kiwa amazzi obudde okuyingira mpola mpola mu ttaka ebimera ne bisobola okubifunamu. Okwongerako, kikendeeza okuluguka kw’ettaka kubanga kikendeeza ku sipiidi amazzi gye gadukirako. Kiyambako n’okukendeeza ebiriisa okukka wansi mu ttaka emirandira gye gitatuuka. Kino kiyamba ettaka okubeera ejjimu n’okubeera n’obulamu.
Wabula, enkola eno eyambako akaseera katono awo mubiseera ebirimu okuluguka kwe ttaka, oba nga amazzi matono. Buli ettaka bweritawanyizibwa emirundi emingi kireetera okulyonona okumala ekiseera ekiwanvu.
Ebinnya ebiikwaata amazzi munimiiro by’etaaga okukozesebwa wamu n’enkola endala ezitereeka n’okukuuma amazzi muttaka nga ebirime ebibbika, okubbikkae, ensalosalo, ebintu ebitekebwa mu nimiro okuwatta amazzi n’embibiro.
201⸱BOby’okufumintiriza
Ebibikka wakati w’emiti gy’emwaanyi ng’ebirime ebibikka, oba ebisubi ebibikka biyambako okutangira ettaka okukuluguka mu bbaafu zino. Engeri gye kiri nti ebirime ebibikka enimiro bitwala obudde okukula, byandibadde bye bisooka okusimbibwa. Mu bitundu gye bakozesa ebyuma okulima, ekifo kitegekebwa ng’ekiseera ky’ekyeeya kiggwako, ebirime ebibikka ne biryoka bisimbibwa wamu n’enkuba esooka.
Ebinnya ebikung’anya amazzi bisobola okukozesebwa ne bwe waba tewali birime bino ebibikka enimiro oba ebisubi.
Ku kaserengeto, ebinnya ebikung’anya amazzi bisobola okukozesebwa wamu n’ensalosalo okukwata amazzi g’enkuba okukulukuta nga gayingira mu baafu zino.
Enkola y’okusima ebinnya nga byetooloozebwa okumpi n’emiti gy’emwaanyi yeetaaga okwewalibwa kubanga eyonoona emirandira.
Ebiseera: Ebinnya ebikung’anya amazzi birina okuteekebwa mu nimiro nga sizoni y’enkuba etandika. Kino kikulu nnyo oluvannyuma lw'ebbanga eddene ery'ekyeeya era nga waliwo enkuba ennyingi, kubanga mu kiseera kino waliwo omukisa munene ogw’ettaka okukuluguka ate n’amazzi tegayingira mu ttakka bulungi olw’enkuba enyingi.
201⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
201⸱1Emitendera








Bw’oba ng’osimbye emwaanyi mu mabanga agalagirwa, ekinnya kimu buli miti gy’emwaanyi ebiri.
201⸱2Okusaba
Ekinnya kikungaanya ebisaaniiko okuva mu kusalira emwaanyi n’ebirala, bino bivunda ne bikola nakavundira. N’olwekyo bw’oba oddaabiriza ebinnya bino, ebivaamu osobola okubisaasanya okuliraana emirandira gy’emwaanyi.
201⸱DEmigaso Mubyenfuna
Okukendeza ensimbi z'okufukirira
Ekyuma kino kikendeeza ku byetaago by'okufukirira n'olwekyo ne ku bintu ebikozesebwa.
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
201⸱EEmigaso gy'obutonde
Okukekkereza amazzi
Enkola eno ekekkereza amazzi bwe gabanga tegalabikalabika.
Obulamu bw’ettaka obulungi
Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.