
#107Okoddabulula ennimiro y’emmwanyi
107⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Kyongera kubungi bw’emmanyi obukungulwa.
- Okuzza obuggya emiti gy’emmwanyi.
- Okwengera omuti gw’emmwanyi amaanyi okugumira ekyeeya.
- Okutekawo embeera ekontana neeyo ebiwuka n’endwadde mwebyandyeyagaride.
Okuddabulula ennimiro y’emmwanyi oba okuddamu okusimba obupya, kitegeeza okukuulamu emmwanyi enkadde ngatezitakyaabala bulungi (okutwalira awamu nga ziri mu myaka abiri n’omusobyo), awo omulimi nazisikiza endokwa empya.
Omuti gw’emwanyi gutandika okubala wakati w’omwaka ogw’okubiri n’ogwokusatu okuva lwegusimbiddwa, owa negubala bulungi paka wakati w’emyaka mukaga n’omusanvu. Oluvanyuma amakungula gatandika okukendeera, waddenga okubala kuno okukendede kusobola okugenda mu maaso okumala n’emyaka abiri mwetano(25) oba atano(50), okusinzira kukitundu enimiro mwesangibwa. N’olwekyo kirungi okuddabulula enimiro nga tusalira oba okusimba emwanyi obujja.
Abakugu bagamba nti emwayi ziyina okugyibwawo netusimba emiti emito singa okubala kwazo kuba kukendeerede ddala oluvanyuma lw’okukula enyo, oba nga okubala kukendedde olw’okulumbibwa ebiwuka n’endwadde. Okukula n’okusimba obujja kusobola okukolebwa mumitendara, ekitundu ekimu omwaka guno, n’oguja ekirala. Bw’okola ekyo, obuzibu bwokukola emirimu emingi omulundi ogumu oba obukendezezza era osigala okyakungula eno ngabwosimba.
Ng’ojjeko emyaka, emiti gy’emwanyi eginafuye olw’okulumbibwa endwadde n’ebiwuka, nagyo tusobola okugyijjawo netuteekawo emijja. Enkyukakyuka mumbeera y’obudde nayo esobola okubeera ensoga okutandika okujjawo emiti gy’emwannyi egyitagumira nkyukakyuka eno netuteekawo emiti emirongooseemu egyigumira ekyeeya n’endwadde.
107⸱BOby’okufumintiriza
Okuddabulula ennimiro kitegeeza okusiga mu nimiro sente mu ntandikwa n’okufirwa mu makungula. Naye oluvanyuma, wakati w’emyaka ebiri n’etano, ng’emwanyi zitandise okubala, obungi bw’emwanyi bweyongera nebusuka nekuzewali okungula nga tonaddabulula, ekijirako n’enyingiza eyawaggulu. Okuddabulula kuletawo okeberera kwamakungula n’enyingiza.
Okuddabulula kuno kukuwa omukisa okukyuusa munteekateeka y’ennimiro wekyetagisiza, nga tutekemuko kubirime ebirala nga ebitooke n’ebirime ebirala. Tusobola okusimbamu kumiti mumabanga amatuufu, okusima embibiro awatuufu, okuteekamu ebirime ebibika ettaka era n’okubika.
Kikuwa omukisa okusimba emwanyi enongoseemu.
Okufuna amakungula amalungi okuva kubuli muti okumala ebbanga eddene, oyina okusigala nga omuti ogulabirila bulungi nyo ddala nga osalira, awamu n’emirimu emirala egyitojjeza ekirime ky’emwanyi.
Obudde
Ennimiro y’emwanyi erina okuddabululwa mukiseera nga amakungula gakendeerede ddala. Kino kibeerawo nga emiti gyemwanyi gyiri wakati w’emyaka 20 ne 25, n’okugendera ddala kumyaka 40 ne 50 okusinziira mu kitundu enimiro mweri.
Okusimba kukolebwa nga sizoni y’enkuba yakatandika, nekukomekerezebwa mu makati gasizoni eyo.
Okukkiriza ettaka okuwummulamu akaseera akatono, nga ekyokulabirako emyezi 2–3 nga tonnaddamu kusimba, kiyamba ettaka okuddamu okufuna amaanyi era ne kikendeeza ku bulabe bw’obulwadde n’obuwuka obwonoona ebimera.
Munnimiro y’emwanyi, ebitundu 80% eby’emwanyi biyina okuba nga bibala bulungi nyo ddala, awo nga 20% biddabululwa.
107⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
107⸱1Emitendera
107⸱2
107⸱3
107⸱4
Mubitundu ebikozesa ebibyuma eby‘omuliro, emirimu gyino gyona ng’okusigula enkonge, okukabala, okusima ebinya n’okusamu ebigimusa byona bikozesebwa byuma bino.
107⸱5
107⸱6
107⸱7
107⸱8
107⸱9




Ennimiro edabuluddwa ekuwa omukisa okutabikirizaamu ebirime ebirala, emiti gy’ebisikirize, oba ebimera ebibikka ettaka, oba okubikka. Kyamugaso okukuuma obulungi ettaka ngotabikirizaamu ebirime ebirala kubanga emiti egibadde gireeta ebisisikrize gisaliddwaawo.
107⸱DEmigaso Mubyenfuna
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
Omutindo gw’emwanyi omulungi
Ekiwandiko kino kiyamba okutumbula omutindo gw’emwanyin’enyingiza y’omulimi neyongera.
Okufirizibwa kukendeera
Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.
Kikendeeza ensasaanya ku bakozi
Enkola eno eyinza kwetagisa abakozi nebikozesebwa ebiwerako mu ntandikawa. Wabula, emigaso gyayo mudda ekenddeza obwetavu mu bakozi ekiretawo okukekereza.
Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.
Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.
107⸱EEmigaso gy'obutonde
Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono
Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.
Obwetaavu bw’edaggala bukendeera
Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.
Mitigation of deforestation
This tool reduces the need to clear new land for coffee cultivation, helping to conserve forests and their ecosystems.
107⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma
Endagiriro
Okuzza obuggya mu nnimiro z'emmwanyi - Global Coffee ReportRobusta Coffee Handbook.pdf (ugandacoffee.go.ug)Obulimi obuzza obutonde mu buggya okukuuma ekikka kya carbon wansi n’okuzimba ennimiro z’emmwanyi ezesobola okwewala ebikalu n’ebbula ly’ensigo: Kitabo ky’eby’okukolera mu nkola. Enkyusa 1.0 (cgiar.org)