
#106Okudabulula Emwanyi
106⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Okwongeza amakungula gemwanyi
- Kiyamba okuzza obujja emiti gyemwanyi
- Kisobozesa omuti gwemwanyi okuguminkiriza ekyeya
- Kitekawo embera yobudde etasobozesa buwuka nendwade okweyongera
Okusobola okudabulura emwanyi kirimu okutekesa munkola enima ezomulembe nga okujjako ebiwakatilwa, okutema emitti egikaddiye kwosa nenkola endala ntooko, bwokola enkola ezo kiyamba okuza obujja emiti gyemwanyi.
Bwosimba omiti gyemwanyi, kisubilwa okutandika okungulako mumwaka ogwokubiri oba ogwokusatu, era kisubilwa nti amakungula amalunji gatandikira wakati womwaka ogwomukaga mpaka mumwaka gwomunana. Emwanyi bwesukka emyaka munana amakungula gatandika okwesala, wabula gusobola okusigala ngagubalako emwanyi singa obera ogusalidde neguleta ebirokerelwa ebito okutukira ddala kumyaka 25-30 oba emyaka 40-50 okusinzira kukitundu. Nolwensonga eyo kyetagisa okubera ngogusalira oba okusimbawo omujja.
Kisobozesa omuti okusigala ngagubala ebanga edene ate nga namakungula malungi, kirungi nokozesa enkola ezizza obujja emiti gyemwanyi. Enkola ezo era ziyamba okuziba edibu eriletebwa ebiwuka, endwadde awamu awamu nokukadiwa kwomuti ebiretebwa enima etali yamutido.
Okusalira emwanyi yenkola eyokuwawagulako amatabi agatabala awamu n’obutabi obutakyabalako mwanyi, bwojjako ebirokerelwa nobutabi obutakyabala kiyamba emutii nobutabi obusigadde okufuna amazzi awamu nebirisaebimala. Kiyamba okubera nomuti omulamu obulungi, ngamugumu era nga gukuwa amakungula amalungi, era emiti gyemwnyi gino gisoborela dalla okugumira ekyeya kubanga gibera gisobola okusika amazzi agamala okuva muttaka wamu nogakozesa obulungi.
Okusarira emwanyi era kiyamba omuti okufuna ekitangala nempewo ebbimala okutuka mubuli kanyomero komutti, ekiyamba okuletawo embera enungi wansi womuti naddala mubudde obwenkuba enyingi. Kino kiyamba okulwanyisa endwade eziretebwa obunyogovu nga ekikata.
Okutema yenkola eyokutemako emiti gyemwanyi egikadiye okusobozesa ekikolo okuleta ebirokelwa ebivamu emiti emigya. Emiti emito egimeze kunkonge gizabujja omuti gwemwanyi ekiyamba okwongera kukubala kwemwanyi mubanga epamvu.
Okuwagulira yemu kunkola yokusalira era mubitundu ebimu etwalibwa nga enkola eyokuzza obugya emwanyi. Muno mwemuli okujjako ebiwakatilwa oba ebimererezi ebimera kumuti gwemwanyi oba kubutabi (obukwa). Ebiwakatilwa bijjibwako.
106⸱BOby’okufumintiriza
Okwongera okukatiriza, kirungi ekyokudabulula emwanyi nekyongerezebwako enkola ezomulembe mukulima nga okweyambisa nakavundira n’endabirira enungi nga okuwabula okwava mukukebera ettaka bwebyalambika, okusobola okufuna emigaso emingi, nenkola eyokutta obuwuka nokulwanyisa endwade tesanye kusulibwa muguluka.
Okudabulura emwanyi ara kiwa omukisa okusobola okutabikiriza mumwanyi ebirime ebikula amangu nga Kasoli nebijjanjalo (ebirimeme ebibika ettaka), okubika ngokozesa ebibika awamu nokutabikamu emiti egyebisikirize.
Okusalira kulina okukolebwa ku bilime bya kawa (coffee plantations) ebirina obungi obumala obw’ebimera (ebyisinga ku miti 3000 buli hekta) era ne ku bimera bya kawa ebitaliiko buzibu mu mirandira.
Ng’oggyeeko enkola ez’okuddaabiriza, nga okusalira (pruning) n’okutemera ddala ekimera (stumping), abakugu basaba abalimi ba kawa okuddaamu okusimba emiti gya kawa nga gibuzeeko amaanyi oluvannyuma lw’ebbanga lyayo ery’okwazaala. Ebitundu eby’enjawulo eby’ettaka bisobola okuddaabirizibwa oba okusimbibwamu buggya buli mwaka. Mu kukola kino, omulimu gugabanyizibwa bulungi era ne kubeerawo enkwatagana ennungi wakati w’emiti egazaala n’egipya. Osobola okulaba enkola eno ey’okuddaabiriza/okusimba buggya wano: Okoddabulula ennimiro y’emmwanyi.
Okukuzza buggya n’okuddaabiriza emiti gya kawa kiyamba okwongera ku musolo gwa kawa ogufunibwa, ekivaako okwongera ku mutindo gw’okufulumya n’ensimbi z’abalimi ba kawa
Obudde: Okuddaabiriza kulina okukolebwa buli kiseera, okusinziira ku nkola ekozesebwa. Okumanya ebisingawo, laba enkola eri wansi.
106⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
106⸱1Procedure
Okusalira
Kirungi nosalira emwanyi ngawakavva mu makungula amakulu, buli mwaka olwokuba emiti gibera mumbera yakuwumula

Okubagulizibwako: kirungi okusunsulamu emiti n’amatabi agatakyabala bulungi ngoli mumakungula
106⸱2
Okubagulizibwako: obutabi obuli okumpi wansi n’ettaka kirungi nebusalibwako kubanga bwangu bwakusaka ndwadde n’ebiwuka
Okubagulizibwako: kirungi nokozesa ebisalira ebiyonjo era nga bisala bulungi okwewala okunubuula omuti awamu n’okufuna endwadde.
Okusalira kuyinza n’okutwaliramu okusala ku ntikko y’omuti. Kino kiyamba okuyimiriza okukula kw’omuti okugenda waggulu era ne kisikiriza okukula kw’amatabi ag’olubalama.
106⸱3
106⸱4
Okutema
Okusalira kwe kutema emiti gy’emwanyi egikadiye era nga tegikyabala bulungi okusobola okumerererako emiti emito egirina amanyi. Okusalira kulina okolebwa oluvanyuma lw’okutekesa enkola endala munkola ezidabulula emiti gy’emmwanyi nga okujjako ebirokelwa.
Emiti gy’emmwanyi bwegiweza emyaka 10 kisanidde okugisalira omulundi ogusooka, kino kikolebwa oluvannyuma lwamakungula. Emiti egimera kunkonge, bwegiweza emyaka musanvu nagyo gibeera gituse okusalibwa era kikole bwotyo bulijjo. Wabula okusunsula emiti eginasalibwako kisaanye kikolebwe n’obwegendereza nga wesigama kumbeera y’obutonde. Okyokugeza, emmwanyi ezikulira mu bitundu eby’obunyogovu wamu n’ebyo ebirimu ebbugumu eringi ennyo gyanguwa mangu okukaddiwa n’olw’ensonga eyo okubirizibwa okugisalira nga gyakaweza emyaka 10-12. Ate mubitundu ebirina ebugumu n’obunyogovu obusamusamu, okusalira kutwalamuko akabanga naye nga tosonye kusuka myaka 15. Ate emmwanyi ezirimwa mubitundu omuli ebibira okusalira kikolebwa oluvanyuma lwokulaba ng’omuti tegukyabala bulungi, era kirungi okuwa amabanga agamala wakati w’emmwanyi n’emiti obutaletawo mugotteko era n’okusimbamu obungi obwetagisa mu buli yiika.
Ensonga endala eziletera okusalira emwanyi nga simyaka mulimu;
- Okukendera mukubala kwomuti gwemwanyi
- Obuwuka nedwade okulumba omuti
- Singa waberawo obwetavu bwekibangirizi ekyo kulima mu
- Singa emiti gibera gikozedwa omuziranobunyogovu
- Singa emiti gibera giwanvuye nyo nga tegikyasoboka kunogebwa mangu.
Laba nti enkonge yomuti gwemwanyi erina emirandira egimala okusobozesa okumera kwebiwakatilwa.

Okubagulizibwako: Bwoba wakusarira omusiri gwona omulundi gumu, kirungi otabikirize mu nebirime ebikula amangu okusobola okuyingiza nga tewali makungula gamwanyi.
106⸱5
Okubagulizibwako: Kuuma omusemeeni, akasumeeni ne bumakansi nga bukalu okwewala okutalagga
106⸱6
Sala amatabi n’ebikolo emabega:
Kirungi okuleka amatabi agakyakola ku kikolo ng’osalira, kubanga amatabi agali wansi w’ekifo we watemera gayamba okusikiriza okumera kw’ebimuli ebiggya.
Mu bitundu ebifuna enkuba ennyingi, kirungi okusiiga omuti ogutemeddwa eddagala eritta obuwuka bwa ffaangi oba ekigatta ekirimu ekikomo, okwewala endwadde eziva ku ffaangi.
106⸱7
Enimoro yemwanyi esalidwa ewa omwaganya okulima ebimera ebibika etaka, okubika ngokozesa ebisubi ebikalu era nokusimba mu emiti gyebisikirize, kino kisobozesa omulimi okukuma etaka, ate era nebimera ebirimwamu bibera bisobola bulungi okufuna ekitangala.
106⸱8
Ekimerezi kunkonge yemwanyi kisubilwa okitantika okubalila kumwaka gumu kwebiri.
106⸱9
Okuwagagulira
Okuwawagulira emmwanyi kikolebwa ebbanga lyonna wekyetagisiza mumwaka gwonna. Mumwanyi ezibala kirungi okuwawagulira emmwanyi emirundi ebiri mumwaka nga mu Muzigo (Ogw’okutaano) ne Mukulukusa bitungotungo(Ogw’ekkumi). omulundi ogusoka kirungi ejjeko ebiwakatilwa ku miti nga byamyezi 3-4, n’ogwokubiri nga wayisewo emyezi 2 ku 3.

106⸱DEmigaso Mubyenfuna
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
Okufirizibwa kukendeera
Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.
Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.
Ensasanya entono ku ddagala ly’okufuyira ebiwuka
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’eddagala ly’ebiwuka munimiro, n’okukendeeza ensasanya kubikozesebwa okumala ekiseera.
106⸱EEmigaso gy'obutonde
Ebijimusa ebikolerere by’etaagisa bitono
Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukendeeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere. Kino kiyambako mukukendeeza omukka omubi n’okwononeka kw’amazzi, eky’ongeza kubulamu bw’ettaka n’okukekereza ebikozesebwa.
Obwetaavu bw’edaggala bukendeera
Enkola eno ekendeeza obwetaavu bw’edaggala ezungu. Kino kikendeeza ku daggala eryonona amazzi mu migga n’enzizi, kikuuma obutonde bw’ensi, obulamu bw’ettaka bweyongerako, era kikekereza obyobugagga.
Etebekenza embeera y’obudde entonotono mu kitundu
Ekyuma kino kiyamba okugolola obutonde bw'obudde obw'omu kitundu. Kino kiyamba okukendeeza ku bungi bw'ebizibu ebiva mu kusinziira ku by'obudde.