#210Okwekeneenya ettaka
210⸱AEndowooza y’ekiwandiiko
- Kiyamba mukutumbula endya y’ekirime.
- Kiyamba mukulungamya olunnyo lw’éttaka
- Kiyamba okw’ongeza amakungula g’emwanyi
- Kiyamba mukw’ongeza omutindo gw’emwanyi
- Kiyamba mukumanya oba okutegeera ensengeka y’ettaka
- Kiyamba mukugerageranya butya ettaka bw’erikozesa amazzi obulungi.
Okwekenenya ettaka kiyamba omulimi okuteegera obugimu bwalyo, n’ebijimusa eby’etagisa n’obungi bwabyo okusobola okukuuma ebiriisa ebiri muttaka nga bimala bulungi, okutumbula embala y’ébirime, okuzuula n’okutereeza ebisomooza enkula n’obulamu obulungi obw’ebirime, okukendeeza kunsasanya, okukuuma obulungi ebikozesebwa n’okukuuma obutonde nga twewala okukozesa ennyo ebiriisa by’eyettaka ebikorelere ebiyinza okw’onoona ettaka n’amazzi mu binya by’ago.
Emiti gy’emwanyi gy’etaaga ebirungo by’ettaka ebimu mubungi, ebiyitibwa ebirungo ebinene oba eby’amanyi nga: nayiturojeni(N), Fosiforasi, ne potasiyamu, wamu ne kalisiyamu, maginiziyamu ne salufa. Ebirungo by’ettaka ebirala eby’etagisa mubipimo ebitono tono nga: kulorini, ayani,manganizi,zinki,kopa,boroni, ne Molybdenum. Ebirungo bino byonna ekimera kibifuna kuva muttaka.
Okubeerawo kw’ebirungo bino muttaka kugerageranyizibwa mukwekenenya ettaka.
Okwekenenya ettaka kiyamba mukumanya obungi bw’ebirungo bino n’olunnyo lw’ettaka. Olunnyo lw’ettaka ky’ekipimo ky’obukaawu n’obukakamu bw’ettaka.
Okugaata okw’ekenenya kw’ettaka, amazzi n’ebikoola gw’emutindo ogusiinga mukuliima emwanyi. Okwekebejja ettaka kiyamba mukuzuula ebirungo ebiri muttaka lino, okwekebejja ebikoola kiyamba okumanya ekirime by’ekilya oba by’ekisiika muttaka n’okwekebejja amazzi kiyamba mukunyonyola entambula, okubeerawo n’omutindo gw’ebirungo by’ettaka. Nga ojjeko okwekenenya ettaka n’ebikoola, okutunula obutunuzi kunkula n’endabika y’ekirime n’ebikoola by’akyo kisobola okuyamba okumanya kirungo ki ekirime kino ky’ekyetaaga oba ky’ekitalina.
210⸱BOby’okufumintiriza
Okwekenenya ettaka kintu ky’ankizo ekirina okukolebwa nga ebijimusa ebikolerere oba binakavundira nga kompositi, bokasi, ebitereeza embeera y’ettaka nga bayokya oba ebirala ebilongoosa ettaka nga gipusamu, layimu n’ebirala nga tebinakozesebwa.
Ettaka gy’elikoma okuba eddene, gy’okoma okukunganya ettaka ely’okukebererako oba okulabirako.
Ettaka ery’okukebererako lirina okujjibwa mubutundutundu obusobola okulaga embeera y’ettaka mu poloti yonna gy’oyagala okolako okwekenenya. Tojja ttaka ly’akukebererako okulirana omuti gw’ekisikirize, ensalosalo, w’omazze okuteeka ekijimusa oba ekintu ekirala kyonna, oba okuva mubutundu obulina ekikula ky’ettaka eky’enjawulo kubitundu by’apoloti ebirala. Ebanga ly’amita 10 lilina okulekebwo okuva ewayibwa obussa bw’ebisolo oba kasasiro w’ewaka. Ettaka eriva mubifo nga bino liyinza okwonona ebinava mukwekenenya ettaka.
Ebifo eby’ekebejebwamu ettaka bisoboola okuzuulwa nga omulimi ayambibwako abalimisa babulijjo,nga babalungamya kubifo ebituufu eby’akakasibwa okwekenenya n’okwekebejja ettaka.
Obudde obutuufu
Okwekenenya ettakakulina kolebwa buli luvanyuma lw’amwaka oba emyaka ebiri, naddala nga amakugula gakagwa nga ekiseera ky’okuteeka ebijimusa muttaka tekinatuuka, kisobozese omulimi okukozesa ebivudde mukwekenenya ettaka okutegeeka ebiriisa ebituufu oby’okukozesa sizoni eddako. Ettaka ly’okebererako telirina kukunganyizibwa nga ekijimusa ky’akatekebwa muttakaoba mukiseera ky’enkubba enyingi, kuba bino biyinza okutataganya obutuufu bw’ebinava mukw’ekenenya ettaka.
210⸱CEkutekesa mu nkola
Okuteeka mu nkola
210⸱1Okwetekateka
Buli kitundu tundu eky’agabanyizidwamu kirina okuba nga kifanana n’ebitundu ebirala mumbeera y’ekika ky’ettaka, obukko, endabirira n’ebirala. Ebitundu ebirina enjawulo kubirala by’ekenenyezebwe nga by’awuddwa, buli kitundu kijibwemu ettaka ly’okwekenenyezebwa ery’akyo.
Wewale ebifo ebitali by’abulijjo nga okumpi n’emiti, enguudo, ebifo ebiyibwamu obussa, ebifo eby’ayokebwa oba ebiyibwamu kasasiro, ewaterekebwa ekijimusa, oba obutundu obuyitamu mukoka. Lekawo ebanga ly’a mita 10 oba enta 15 okuva kubifo ebirimu obussa bw’ebisolo oba ewayibwa kasasiro w’ewaka.
210⸱2Emitendera
Ebikozesebwa birina okuba nga biyonjo okwewala okukyusakyusa ebinava mukwekenenya. Longoosa bulungi ekikunganya ettaka oba ekitiiyo buli luvanyuma lw’okung’anya ettaka mukitundu tundu ekimu.
210⸱3

210⸱4
Likuume obutatukibwako musaana n’abikyafu.
Mubituundu ebimu, okazza ettaka lino kikolebwa mubifo gy’ebekenenyereza ettaka.
210⸱5
210⸱6
210⸱7
210⸱8
210⸱9
Goberera entekateeka eno otumbule embeera n’ebirungo by’ettaka lyo. Kino kijja kuviiramu okufuna ebimera ebirungi n’amakungula g’eyongere.
210⸱DEmigaso Mubyenfuna
Okukendeeza kusente ezisasanyizibwa kubijimusa
Ekiwandiko kino kiyamba omulimi okukendeza kubwetaavu bw’ebijimusa ebikolerere, ekimuyamba okukekereza sente ezisasanyizibwa mu by’etaago okumala akaseera.
Amakungula g’emwanyi g’eyongera
Ekiwandiko kino kiyamba mukw’ogeza amakungula g’emwanyi n’enyingiza y’omulimi
Okufirizibwa kukendeera
Ekiwandiko kino kiyambako mukukendeeza okufirizibwa mumakungula n’omutindo gw’emwanyi.
Omutindo gw’emwanyi omulungi
Ekiwandiko kino kiyamba okutumbula omutindo gw’emwanyin’enyingiza y’omulimi neyongera.
210⸱EEmigaso gy'obutonde
Obulamu bw’ettaka obulungi
Ekiwandiiko kino kiyamba mu kuteereza obulamu bw’ettaka(obuwuka obusirikiti, ensiringanyi, n’ebirala). Kino kikola omulimo gw’amanyi nyo mukutereeza endya y’ekirime n’obutonde.
Okozesa obulungi ebikozesebwa
Ekiwandiiko kino kiyamba mukukendeeza okozesa ennyo ebikozesebwa, n’engeri gy’ebikosamu obutonde okugeza nga ebijimusa, n’amazzi nga olondoola enkozesa ya byo.
Omukka omubi gukendeera
Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okukozesa obulungi ebikozesebwa, entambuza y’ab’yo, era kimuyamba okukendeeza kumukka omubbi ogugenda mubanga kubuli yuniti ya mwanyi efulumizibwa(oba erimwa).
Okugumira embeera y’obudde embi
Ekiwandiiko kino kiyamba omulimi okutereeza (okwenkanyankanya) obulamu bw’ettaka, ekiyamba emiti gy’emwanyi okugumira ekyeeya, ekibugumu n’endwadde ezijilumba obulungi, ekiyambako ebikolebwa okuteereza embeera y’obudde.
210⸱FOkwongera okufuna ebyokulabirako Oba ebyokusoma
Ebiwandiiko